LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w08 7/1 lup. 17
  • “Omuwala Omuisiraeri” ow’Omu Kiseera Kyaffe

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • “Omuwala Omuisiraeri” ow’Omu Kiseera Kyaffe
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Laba Ebirala
  • Yakuwa Talekangayo Kunnyamba!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2018
  • Yakuwa Atuwa Emikisa Bwe Tufuba Okubaawo ku Kijjukizo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2023
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
w08 7/1 lup. 17

“Omuwala Omuisiraeri” ow’Omu Kiseera Kyaffe

NG’EBULAYO wiiki bbiri Ekijjukizo ky’okufa kwa Yesu kituuke, buli omu mu maka ga Mwami Sales abeera e Praia Grande mu Brazil yawandiika amannya g’abantu be yali agenda okuyita. Abigayl ow’emyaka omukaaga yafuna akapapula akayita abantu kamu abeeko gw’ayita, era bazadde be baamubuuza ani gwe yali agenda okukawa.

Yaddamu nti: ‘Ŋŋenda kukawa omusajja oli atera okunteerako akamwenyumwenyu.’

Bazadde be baamubuuza nti: “Musajja ki oyo?”

Yabaddamu nti: “Oli atambulira mu kagaali k’abalema.”

Nga wayise ennaku nnya, Abigayl yalaga bazadde be omusajja gwe yali abagamba. Omusajja oyo ayitibwa Walter yali abeera kumpi n’Ekizimbe ky’Obwakabaka. Emyaka egisoba mu 15 emabega, bwe yali ng’aweza emyaka 28, yagwa ku kabenje k’emmotoka n’asannyalala okuva mu kiwato okukka wansi. Yali musajja mugagga era ng’alina n’abakuumi babiri. Abigayl bwe yaweebwa olukusa okwogera ne Walter, bazadde be bategeeza omusajja oyo nti muwala waabwe yalina akapapula akayita abantu ke yali ayagala okumuwa.

Abigayl bwe yali amaliriza okwogera n’omusajja oyo yamugamba nti: “Abalala bonna mu Kizimbe kyaffe eky’Obwakabaka balina obupapula obuyita abantu bungi naye nze nnina kamu kokka. N’olwekyo mpise gwe wekka. Bw’otojje, nja kuba sirina muntu yenna gwe nkyazizza. Naye bw’onojja, nja kusanyuka nnyo, ate Yakuwa ajja kusanyuka n’okunsinga.”

Ku lunaku lw’Ekijjukizo, Abigayl n’Abajulirwa abalala baayonja Ekizimbe ky’Obwakabaka nga beetegekera omukolo gw’Ekijjukizo ogwali gugenda okubaawo akawungeezi ako. Walter bwe yali ayitawo n’alengera Abigayl, kwe kugamba omugoba wa mmotoka okuyimirira. Yaggulawo eddirisa n’abuuza Abigayl kye yali akola. Abigayl yamuddamu nti baali bamuyonjeza ekizimbe kirabike bulungi.

Akawungeezi ako, Abigayl omutima tegwamuli wamu. Wadde emboozi yali etandise, yali akyamagamaga okulaba obanga Walter azze. Aba ali awo nga Walter atuuse n’abakuumi be. Abigayl yasanyuka nnyo. Ng’emboozi ewedde, Walter yagamba nti mu butuufu yali akutte erigenda mu kibuga ekirala naye ne yeekyusa n’ajja ku Kijjukizo olw’okuba Abigayl yali amuyise. Era yagamba nti: “Emboozi bw’etyo gye mbadde nneetaaga okuwulira.” Yasaba Baibuli era yatandika okuyiga Baibuli n’okugenda mu nkuŋŋaana.

Ate era Walter yalina mwannyina eyagamba nti yali ayagala nnyo okulaba Abigayl, Walter gwe yayogerangako ennyo. Bwe balabagana, kyamusanyusa okulaba nti Abigayl yali mwana muto ate nga mwana mulungi. Era yagamba nti: “Kati ntegedde lwaki mwannyinaze musanyufu nnyo.”

Walter agenda mu maaso n’okuyiga Baibuli era agenda mu nkuŋŋaana. Addamu ebibuuzo mu nkuŋŋaana era by’ayiga abibuulirako abalala. Awatali kubuusabuusa, omuwala ono omuto Abigayl atujjukiza omuwala Omuisiraeri eyayamba Naamani okumanya Yakuwa, Katonda ow’amazima.​—2 Bassekabaka 5:2-14.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza