LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w07 11/1/07 lup. 3
  • Ensonga Lwaki Si Kyangu Kuba Muwombeefu

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Ensonga Lwaki Si Kyangu Kuba Muwombeefu
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
  • Laba Ebirala
  • Beera Mwetoowaze
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
  • Yakuwa Ayagala Nnyo Abaweereza Be Abeetoowaze
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2019
  • Yakuwa Abikkula Ekitiibwa Kye eri Abeetoowaze
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
  • Yesu Yali Mwetoowaze
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
Laba Ebirara
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
w07 11/1/07 lup. 3

Ensonga Lwaki Si Kyangu Kuba Muwombeefu

ABANTU bangi balowooza nti tekigasa okuba omuwombeefu mu nsi y’akakyo kano. Abo abamanyiddwa ennyo era nga balabika nti bali bulungi beebo abeegulumiza, ab’amalala era abakalambira ku ndowooza yaabwe bwe baba balina kye baagala. Okutwalira awamu abantu beegomba abagagga n’abatutumufu so si abawombeefu oba abeetoowaze. Abo abasobola okwetuusaako buli kye baagala batera nnyo okwenyumiriza olw’ebyo bye batuuseeko era beewaana nti buli kimu bakikoze mu maanyi gaabwe.

Omunoonyereza omu ow’omu Canada yayogera ku “ndowooza y’okwefaako ebaluseewo” mu ggwanga lye. Abalala bawulira nti ensi mwe tuli etwala okwesanyusa ng’ekintu ekisinga byonna obukulu era balaba nti abantu b’omulembe guno bongedde nnyo okwoleka omwoyo gw’okwefaako. Mu nsi efaanana bw’etyo, okuba omuwombeefu kiyinza okulabika ng’ekitali kya magezi.

Awatali kubuusabuusa, abantu abasinga bakkiriza nti kiba kirungi abalala okuba abawombeefu, okuva bwe kiri nti abantu ng’abo baba bangu okukolagana nabo. Kyokka, mu nsi yaffe eno ejjudde okuvuganya, abamu balowooza nti singa bo bennyini baba bawombeefu, abalala baggya kubatwala okuba abatiitiizi.

Ekigambo kya Katonda, Baibuli, kyalagula nti mu kiseera kyaffe abantu bandibadde ‘beenyumiriza, era nga ba malala.’ (2 Timoseewo 3:1, 2) Tokkiriza nti obunnabbi buno leero butuukiridde? Okuba omuwombeefu okirabamu omugaso gwonna? Oba olowooza nti omuntu omuwombeefu ayinza okutwalibwa ng’omujega, omwangu okukozesa kyonna ky’oyagala?

Ekituufu kiri nti Baibuli etuwa ensonga ennungi ezituyamba okulaba lwaki twandifubye okuba abawombeefu. Eraga endowooza ennuŋŋamu gye tulina okuba nayo ku buwombeefu era n’eraga nti obuwombeefu kabonero akalaga obuvumu so si obujega.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 3]

Twandiwulidde tutya nga tuliko ekintu eky’amaanyi kye tukoze?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza