Oyanirizibwa Okuwuliriza Okwogera okw’Enjawulo Osobola
Okufuna Obukuumi mu Nsi Eno Erimu Ebizibu!
Okwogera kuno okwesigamiziddwa ku Baibuli kujja kuweebwa mu nsi ezisukka mu 230. Mu bitundu ebisinga obungi, kujja kuweebwa ku Ssande, Apuli 15, 2007. Bya kuyiga ki ebinaaba mu mboozi eno? Lowooza ku bino:
Kiki ekireetedde obuwumbi n’obuwumbi bw’abantu okuwulira nti tebalina bukuumi?
Okusingira ddala, ddi abantu lwe baatandika okuwulira nti tebalina bukuumi?
Obukuumi obwannamaddala busobola kuva wa era busobola kufunika mu ngeri ki?
Okusobola okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo, osabibwa okubeerawo okwogera okwo okw’enjawulo okwesigamiziddwa ku Baibuli bwe kunaaba kuweebwa mu bifo nkumi na nkumi okwetooloola ensi. Mu bifo ebisinga obungi, kujja kuweebwa mu Bizimbe by’Obwakabaka eby’Abajulirwa ba Yakuwa. Abajulirwa ab’omu kitundu kyo bajja kukutegeeza ebiseera n’ekifo. Tukwaniriza n’essanyu okubeerawo ng’okwogera kuno okuzzaamu amaanyi era okutuukidde mu kiseera, kuweebwa.