LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w06 11/1 lup. 32
  • Daniel ne Bbaagi ye ey’Olukuŋŋaana Olunene

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Daniel ne Bbaagi ye ey’Olukuŋŋaana Olunene
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
w06 11/1 lup. 32

Daniel ne Bbaagi ye ey’Olukuŋŋaana Olunene

YESU yavumirira abakulembeze b’eddiini abaali beetwala okuba abatuukirivu era abaanyiiga bwe baalaba ng’abaana abato batendereza Katonda mu lujjudde. Yesu yababuuza nti: “Temusomangako nti Mu kamwa k’abaana abato n’abawere otuukirizza ettendo?”​—Matayo 21:15, 16.

Daniel ow’emyaka omukaaga, ng’ali mu kibiina ekyogera Olulasa mu Bugirimaani, kyakulabirako ekirungi ekiraga nti abaana abato bakyatendereza Yakuwa. Ng’ali wamu ne maama we ne mwannyina, baagenda mu lukuŋŋaana olunene olw’Abajulirwa ba Yakuwa olwali mu Duisburg. Ogwo gwe gwali omulundi gwabwe ogwasooka okugenda ku lukuŋŋaana olunene ng’olwo. Buli kimu kyali kippya gye bali: wooteeri, abantu abangi abakuŋŋaanye, okumala ennaku ssatu nga batudde okuwuliriza, okubatizibwa, awamu n’omuzannyo. Ate ye Daniel yeeyisa atya? Yeeyisa mu ngeri ennungi.

Ku Bbalaza oluvannyuma lw’olukuŋŋaana olwo, nga bazzeeyo eka, Daniel yakeera ku makya n’agenda ku ssomero. Naye kiki ekyali kikyali ku kkooti ye? Bbaagi ye eyalaga nti yali ku lukuŋŋaana olunene! Maama we yamugamba nti: “Olukuŋŋaana lwawedde. Leero osobola okuggyako bbaagi yo.” Naye Daniel yamugamba nti: “Njagala buli muntu agirabe ategeere gye nnabadde era ne bye nnayize.” N’olwekyo, yamala olunaku lwonna ku ssomero ng’ayambadde bbaagi ye. Omusomesa we bwe yamubuuza ebikwata ku bbaagi, yamunnyonnyola programu y’olukuŋŋaana olunene.

Mu kukola bw’atyo, Daniel yali agoberera ekyokulabirako eky’enkumi n’enkumi z’abawala n’abalenzi abatenderezza Yakuwa mu lujjudde okumala ebyasa bingi.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza