“Lwa Mulenzi ow’Emyaka Omwenda”
BULI Abajulirwa ba Yakuwa lwe baagendanga mu maka ga Wiesława, abeera mu bukiika ddyo bwa Poland, yabeebazanga kyokka teyabawulirizanga. Lumu, Samuel ow’emyaka omwenda yagenda ewa Wiesława ng’ali wamu ne maama we. Ku luno Wiesława yasalawo okuwuliriza obubaka bwabwe era n’akkiriza ne magazini eyogera ku lusuku lwa Katonda ku nsi.
Olw’okuba Ekijjukizo ky’Okufa kwa Kristo kyali kiri kumpi okutuuka, Samuel yayagala okuyita Wiesława ku mukolo guno ogw’enjawulo. Nga awerekerwako maama we, omulenzi oyo yaddayo, ku luno ng’alina akapapula akayita abantu ku Kijjukizo. Omukyala oyo bwe yalaba ng’omulenzi ayambadde bulungi, naye yaddayo mu nnyumba n’ayambala engoye ennungi. Bwe yakomawo, yawuliriza Samuel, era n’akkiriza okujja ku mukolo, era n’abuuza nti: “Nzijje nzekka oba ne mwami wange?” Era n’ayongerezaako nti: “Omwami wange ne bw’atajje, nze nja kujja. Nja kujja ku lulwo Samuel.” Ekyasanyusa ennyo Samuel, omukyala oyo yajja.
Emboozi ey’Ekijjukizo bwe yali eweebwa, Samuel yatuula kumpi ne Wiesława n’amuyamba okubikkula ebyawandiikibwa ebyali bisomebwa. Kino kyewuunyisa nnyo omukyala ono. Yanyumirwa nnyo Omukolo gw’Ekijjukizo era n’asiima engeri ensonga gye zannyonnyolebwamu mu ngeri ennyangu. Era yakwatibwako nnyo olw’engeri gye bamwanirizaamu era n’ekisa ab’omu kibiina kye baamulaga. Okuva ku olwo Wiesława yeeyongedde okusiima ebintu eby’omwoyo era atandise okukuŋŋaana awamu n’Abajulirwa ba Yakuwa obutayosa. Gye buvuddeko awo yagamba: “Mpulira okuswala olw’okuba saabawulirizanga nga muzze ewange. Era mbategeeza nti nnawuliriza obubaka bwammwe olw’omulenzi ow’emyaka omwenda, Samuel.”
Okufaananako Samuel ow’omu Poland, Abajulirwa ba Yakuwa abato bangi batendereza Katonda okuyitira mu bigambo ne mu ngeri ennungi gye beeyisaamu. Bw’oba oli muto, naawe oyinza okuyamba abantu abeesimbu okusiima ebintu eby’omwoyo.