LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w06 9/1 lup. 3
  • Abawombeefu Bajja Kusikira Ensi

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Abawombeefu Bajja Kusikira Ensi
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
  • Laba Ebirala
  • “Tulabagane mu Lusuku lwa Katonda!”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2018
  • Olusuku lwa Katonda Olwogerwako mu Baibuli Luli Ludda Wa?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • “Bikolebwe mu Nsi, nga bwe Bikolebwa mu Ggulu”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
  • Ensi Erabika Obulungi—Kirooto Bulooto?
    munaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2017
Laba Ebirara
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
w06 9/1 lup. 3

Abawombeefu Bajja Kusikira Ensi

“Kuba ekifaananyi ng’obutonde bwonna buzziddwa buggya. . . . Si mbagirawo, naye oluvannyuma lw’ekiseera kiwanvu okuva kati, ng’ensi n’eggulu bizziddwa buggya.”​—Ebigambo ebyo byayogerwa Jean-Marie Pelt, Omufalansa, omukugu mu by’obutonde bw’ensi.

OLW’OKUBA banakuwavu olw’embeera y’obutonde n’ey’abantu ku nsi, bangi bandyagadde okulaba ng’ensi yaffe efuulibwa ekifo ekirabika obulungi. Kyokka, essuubi lino si lyakajja libeewo mu kyasa kino 21. Dda nnyo Baibuli yasuubiza nti ensi ejja kufuulibwa Olusuku lwa Katonda. Ebigambo bya Yesu ebigamba nti, “abateefu . . . balisikira ensi” ne “by’oyagala bikolebwe mu nsi, nga bwe bikolebwa mu ggulu,” bye bimu ku Byawandiikibwa ebisinga okumanyibwa mu Baibuli. (Matayo 5:5; 6:10) Kyokka, leero bangi tebakkiriza nti abawombeefu bajja kusikira olusuku lwa Katonda ku nsi. Eri abasinga obungi abeeyita Abakristaayo, tebakkiriza nti ensi ejja kufuulibwa Olusuku lwa Katonda.

Ka magazini k’Olufalansa akayitibwa La Vie akafuluma buli wiiki kannyonnyola ensonga lwaki Ekkereziya Enkatuliki tekyakkiririza mu lusuku lwa Katonda, ka lube nga lunaabeera ku nsi oba mu ggulu. Kagamba nti: “Enjigiriza y’Olusuku lwa Katonda ku nsi, ebadde enkulu ennyo mu njigiriza z’ekikatuliki okumala emyaka 1900, tekyayigirizibwa mu kubuulira kwabwe okw’oku Ssande, mu misomo gy’eby’eddiini, ne mu katekiisimu.” Bagamba nti ebigambo olusuku lwa Katonda ‘tebitegeerekeka bulungi era bibuzaabuza.’ Ababuulizi abamu beewala ebigambo ebyo mu bugenderevu kubanga “biwa ekifaananyi eky’okubeera abasanyufu ku nsi.”

Ye Frédéric Lenoir, omukugu ku nsonga z’abantu ezikwata ku ddiini, agamba nti enjigiriza y’Olusuku lwa Katonda ku nsi, “abantu bamala gagikkiriza.” Mu ngeri y’emu, Jean Delumeau, munnabyafaayo era awandiise ebitabo ebiwerako ku nsonga eno, alowooza nti okutuukirizibwa kw’ebisuubizo bya Baibuli okusingira ddala kwa kabonero. Era ayongera n’agamba nti: “Bw’obuuza ekibuuzo ‘olusuku lwa Katonda lunaabeerayo?’ Enjigiriza y’Ekikristaayo egamba nti: Olw’okuba Omulokozi yazuukira, lumu ffenna tujja kubeera basanyufu.”

Obubaka obukwata ku lusuku lwa Katonda ku nsi bukyali bwa makulu leero? Ensi yaffe eneeba etya mu biseera eby’omu maaso? Tusobola okutegeera ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso? Ekitundu ekiddako kijja kuddamu ebibuuzo ebyo.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza