Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
Yesu yali ategeeza ki bwe yagamba Nikodemu nti: “Tewali muntu eyali alinnye mu ggulu, wabula eyava mu ggulu, ye Mwana w’omuntu”?—Yokaana 3:13.
Mu kiseera ekyo Yesu yali ku nsi, era yali tannaddayo mu ggulu. Kyokka bye tumanyi ku Yesu n’ebyogerwako mu nnyiriri eziriraanyewo biyinza okutuyamba okutegeera kye yali ategeeza.
Yesu ‘yava mu ggulu’ kubanga yali abeera mu ggulu ne Kitaawe, naye mu kiseera ekigereke, obulamu bwa Yesu bwateekebwa mu lubuto lwa Malyamu n’azaalibwa ng’omuntu. (Lukka 1:30-35; Abaggalatiya 4:4; Abaebbulaniya 2:9, 14, 17) Oluvannyuma lw’okufa kwe, Yesu yandizuukiziddwa ng’ekitonde eky’omwoyo era n’addayo eri Yakuwa. N’olwekyo, ng’ebulayo akaseera katono attibwe, Yesu yasaba bw’ati: “Ai Kitange, ne kaakano ngulumiza ggwe wamu naawe mu kitiibwa kiri kye nnali nakyo awamu naawe ng’ensi tennabaawo.”—Yokaana 17:5; Abaruumi 6:4, 9; Abaebbulaniya 9:24; 1 Peetero 3:18.
Yesu we yayogerera ne Nikodemu, Omufalisaayo era eyali omuyigiriza mu Isiraeri, yali tannaddayo mu ggulu. Kya lwatu, mu kiseera ekyo tewali muntu eyali afudde n’agenda mu ggulu. Yesu kennyini yagamba nti Yokaana Omubatiza yali nnabbi wa Katonda mwatiikirivu, naye nti “omuto mu bwakabaka obw’omu ggulu [yali] amusinga.” (Matayo 11:11) Era n’omutume Peetero yannyonnyola nti ne Kabaka Dawudi omwesigwa yali afudde era ng’akyali mu ntaana; Dawudi teyagenda mu ggulu. (Ebikolwa 2:29, 34) Waaliwo ensonga lwaki abaasooka Yesu okufa, gamba nga Dawudi, Yokaana Omubatiza, n’abantu abalala abaalina okukkiriza, tebaagenda mu ggulu. Baafa nga Yesu tannaba kuggulirawo bantu kkubo kuzuukizibwa bagende mu ggulu. Omutume Pawulo yawandiika nti Yesu, ‘yatuggulirawo ekkubo eriggya’ erigenda mu ggulu.—Abaebbulaniya 6:19, 20; 9:24; 10:19, 20.
Okuva bwe kiri nti Yesu yali tannaba kufa na kuzuukira, kiki kye yategeeza bwe yagamba Nikodemu nti: “Tewali muntu eyali alinnye mu ggulu, wabula eyava mu ggulu, ye Mwana w’omuntu”? (Yokaana 3:13) Lowooza ku ebyo ebyogerwako mu nnyiriri eziriraanyeewo oba ebyo Yesu bye yali ayogera ne Nikodemu.
Omufuzi oyo Omuyudaaya bwe yajja eri Yesu ekiro, Yesu yamugamba nti: “Ddala ddala nkugamba nti Omuntu bw’atazaalibwa mulundi gwa kubiri tayinza kulaba bwakabaka bwa Katonda.” (Yokaana 3:3) Nikodemu yamuddamu ng’amubuuza nti: ‘Ekyo kiyinzika kitya? Omuntu asobola atya okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri?’ Teyategeera ekyo Yesu kye yali amuyigiriza ekikwata ku kubeera mu Bwakabaka bwa Katonda. Waliwo engeri yonna gye yandisoboddemu okukitegeera? Tewali muntu yandisobodde kumuyamba kukitegeera kubanga tewali muntu yenna eyali abaddeko mu ggulu eyali asobola okumunnyonnyola ebikwata ku kuyingira mu Bwakabaka. Yesu yekka ye yali asobola okumuyamba okutegeera ensonga eyo. Yali asobola okuyamba Nikodemu n’abalala okugitegeera kubanga yali avudde mu ggulu era ng’asobola bulungi okuyigiriza abantu ebintu ng’ebyo.
Ekibuuzo ekikwata ku kyawandiikibwa kino kiraga obukulu obw’okwesomesa Ekigambo kya Katonda. Tekiba kya magezi omuntu okubuusabuusa ekyawandiikibwa kubanga kirabika ng’ekizibu okutegeera. Ebyawandiikibwa ebirala biyinza okukuyamba okutegeera ensonga eyogerwako mu kyawandiikibwa ekimu. Ate era, embeera ebaawo oba ebiba byogerwako mu nnyiriri eziriraanyeewo biyinza okutuyamba okutegeera obulungi ekyawandiikibwa ekirabika ng’ekizibu okutegeera.