Bannamukadde Tebafiibwako era Bayisibwa Bubi
BWE yali annyusse ng’addayo ewuwe, omuserikale akuuma ekiro yatya nnyo bwe yasanga emirambo ebiri egya bannamukadde abafumbo abaali babuuse okuva mu kalina ey’omunaana ne bagwa wansi. Wadde ng’engeri gye bettamu yali ya ntiisa nnyo, ensonga eyabaviirako okwetta ate yo yali yeewuunyisa nnyo. Akabaluwa akaasangibwa mu nsawo y’omwami kaali kagamba nti: “Tusazeewo okwetta kubanga mutabani waffe ne mukyala we batuyisa bubi nnyo.”
Wadde ng’ekikolwa ekyo si kya bulijjo, amazima gali nti bannamukadde bangi okwetooloola ensi yonna bayisibwa bubi nnyo. Lowooza ku byokulabirako bino:
• Okunoonyereza okumu okwakolebwa mu Canada kwalaga nti, bannamukadde 4 ku buli kikumi bayisibwa bubi nnyo ab’omu maka gaabwe. Kyokka, bannamukadde bangi bakwatibwa ensonyi oba batya okwogera ku mbeera embi gye balimu. Naye abakugu bo bagamba nti bannamukadde nga 10 ku buli kikumi be bayisibwa obubi.
• Akatabo akamu akayitibwa India Today kagamba nti: “Wadde nga mu ggwanga lya Buyindi ab’eŋŋanda balabika ng’abalina enkolagana ey’oku lusegere, bannamukadde bangi bayisibwa bubi abaana baabwe.”
• Okusinziira ku kubalirira okumu okwakolebwa, “abantu abali wakati w’akakadde 1 n’obukadde 2 mu Amerika abaweza emyaka 65 n’okusukkawo, baali bayisiddwako bubi mu ngeri emu oba endala era ng’omuntu eyabayisa obubi yali oyo eyali abalabirira,” bwe kityo ekitongole ekiyitibwa National Center on Elder Abuse, bwe kyagamba. Munnamateeka omu mu disitulikiti ya San Diego, ey’omu California, bw’aba ayogera ku ky’okuyisa obubi bannamukadde agamba nti: “kye kimu ku bizibu eby’amaanyi abakola ku nsonga ezikwata ku buzzi bw’emisango bye boolekagana nabyo.” Agattako nti: “Mu kulaba okwange, gye bujjako awo ekizibu kino kigenda kweyongera.”
• Mu kibuga Canterbury, eky’omu New Zealand, ab’eŋŋanda za bannamukadde naddala abo abakozesa amalagala, abeekamirira omwenge oba abakuba zzaala, bayisa bubi bannamukadde nga baagala okubaggyako eby’obugagga bwabwe. Mu 2002 bannamukadde abaayisibwa obubi mu Canterbury baali 65 naye omwaka 2003 we gwatuukira baali baweredde ddala 107. Omukungu omu ow’ekitongole ekyateekebwawo okumalawo ebikolwa eby’okuyisa obubi bannamukadde agamba nti omuwendo ogwo mutono nnyo bw’ogugeraageranya ku muwendo gwa bannamukadde bonna abayisibwa obubi.
• Olupapula oluyitibwa The Japan Times lwagamba nti ekibiina ekifuga bannamateeka mu Japan kyawa amagezi nti “ensonga za bannamukadde abayisibwa obubi zisaanidde okukolwako ennyo n’okusinga n’ezo ezikwata ku kuyisa obubi abaana oba ku bikolwa ebirala eby’obukambwe ebiri mu maka.” Lwaki? Okusinziira ku lupapula olwo, ensonga emu eri nti “ebikolwa eby’obukambwe ebikolebwa ku bannamukadde birwawo okumanyika okusinga ebyo ebikolebwa ku baana oba abakyala abafumbo. Kino kiri bwe kityo kubanga bannamukadde bawulira nti be bavunaanyizibwa abaana baabwe bwe babayisa obubi era n’olw’okuba nti gavumenti n’ebitongole ebikola ku songa zaabwe biremereddwa okubayamba.”
Ebyokulabirako bino ebiraga engeri bannamukadde gye bayisibwamu obubi okwetooloola ensi yonna, bituleetera okwebuuza nti: Lwaki bannamukadde bangi tebafiibwako era lwaki bayisibwa bubi? Ekiseera kirituuka ne kiba nti bannamukadde tebakyayisibwa bubi? Bannamukadde bano bayinza kubudaabudibwa batya?