Okusooka Baabagoba ate Oluvannyuma ne Babaaniriza
EMYAKA mitono emabega, Santiago ne mukazi we Lourdes baagenda mu kibuga ekimu ekiyitibwa Huillcapata eky’omu Peru okubuulira abantu baayo amawulire amalungi. Bwe baatuuka mu kibuga ekyo, waayita akaseera katono omukulembeze w’eddiini omu eyava mu Cuzco n’akuba olukuŋŋaana mu Huillcapata. Mu lukuŋŋaana olwo, munnaddiini oyo yalabula abantu b’omu kibuga ekyo. Yabagamba nti bwe bakkiriza Abajulirwa ba Yakuwa okubeera mu kitundu kyabwe, wajja kubaawo obulwadde obw’amaanyi n’omuzira ebijja okutta ente zaabwe era byonoone n’ebirime byabwe.
Ebyo bye yayogera byaleetera abantu okukyawa Santiago ne Lourdes era okumala omwaka gumu n’ekitundu tewali n’omu yakkiriza kusoma nabo Baibuli. Omukungu w’ekibuga ekyo ayitibwa Miguel bwe yasanganga Santiago ne Lourdes ku kkubo, yabakasuukiriranga amayinja. Kyokka, bo beeyisa ng’Abakristaayo ne bakuuma emirembe.
Ekiseera kyatuuka, abamu ku batuuze b’omu kibuga ekyo ne bakkiriza okusoma Baibuli. Ne Miguel yakyusa endowooza ye n’atandika okusoma Baibuli ne Santiago. Omukungu oyo yalekera awo okunywa ekisukkiridde, n’afuuka omuntu omulungi. Oluvannyuma ye ne mukyala we awamu ne bawala baabwe ababiri bakkiriza amazima ga Baibuli.
Kati we twogerera, mu Huillcapata waliyo ekibiina ky’Abajulirwa ba Yakuwa. Miguel musanyufu okuba nti amayinja agasinga obungi ge yakasuukiriranga Santiago ne Lourdes tegaabakwasa. Ate era musanyufu nnyo olw’okuba abafumbo abo bassaawo eky’okulabirako ekirungi ne bakuuma emirembe.
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 32]
Olw’okuba Santiago ne Lourdes (waggulu) baakuumanga emirembe, kyayamba Miguel (ku ddyo) okukyusa omutima gwe