Kalumagedoni Eneeba Nkomerero ya Buli Kintu?
KIKI ekikujjira mu birowoozo bw’owulira ekigambo Kalumagedoni? Olowooza eneeba nkomerero ya buli kintu, oba ensi okusaanyizibwawo n’omuliro? Mu nsi nnyingi abantu batera nnyo okwogera ku “Kalumagedoni” n’okusinga ebigambo ebirala ebiri mu Baibuli. Bangi bakikozesa okutegeeza akatyabaga akoolekedde olulyo lw’omuntu. Abalala bakozesezza ebifaananyi eby’oku ntimbe okulaga abantu embeera bw’eneeba ku “Kalumagedoni.” Wadde bangi balina endowooza za njawulo ku Kalumagedoni, endowooza ezo si ntuufu era tezikwatagana n’ekyo Baibuli ky’eyigiriza.
Okuva bwe kiri nti Baibuli ekozesa ekigambo kino ng’eyogera ku “nkomerero y’ensi,” tekyandibadde kirungi n’otegeera amakulu ag’ekigambo kino? (Matayo 24:3) Ate era, tekyandibadde kirungi okusoma Ekigambo kya Katonda n’olaba kye kyogera ku Kalumagedoni era n’omanya ekinaakutuukako n’ekinaatuuka ku b’omu maka go ku lunaku olwo?
Bw’onoosoma Baibuli ojja kulaba nti Kalumagedoni si nkomerero ya buli kintu. Wabula ojja kukizuula nti oluvannyuma lwa Kalumagedoni abantu bajja kubeera mu nsi empya ey’obutuukirivu. Ekitundu ekiddako kigenda kukuyamba okutegeera Ebyawandiikibwa kye byogera ku Kalumagedoni.
[Akasanduuko/Ekifaananyi ekiri ku lupapula 3]
OLOWOOZA KALUMAGEDONI KYE KI?
• Lwe lutalo nnamuzisa
• Kwe kuzikirizibwa kw’obutonde bw’ensi
• Ebyaziyazi ebinene bijja kuva mu bwengula bitomere ensi
• Lwe lunaku Katonda lw’anaazikiririzaako ababi