LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w05 7/1/05 lup. 3-4
  • Okunoonya Emirembe

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Okunoonya Emirembe
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
  • Laba Ebirala
  • Okuba Omumativu n’Okuba Omugabi
    Zuukuka!—2018
  • Wa w’Oyinza Okuzuula Emirembe mu Mutima?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
  • Oyinza Okuzuula Emirembe mu Mutima?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
w05 7/1/05 lup. 3-4

Okunoonya Emirembe

ALBERT yalina obufumbo obulungi era ng’alina abaana babiri. Wadde kyali kityo, yawuliranga nti waliwo ekimubulako. Mu kiseera we yali anoonyeza omulimu, yayingira eby’obufuzi era n’atandika okuwagira enkola y’Ekikomunisiti. Yafuuka mmemba w’ekibiina ekyo omukuukuutivu.

Oluvannyuma lw’ekiseera, Albert yawulira nga si mumativu n’enkola y’Ekikomunisiti. Yava mu by’obufuzi era n’asalawo okubeera n’ab’omu maka ge. Yafuba okulaba nti ab’omu maka ge bonna baba basanyufu. Kyokka, Albert yali akyawulira nti wakyaliwo ekimubulako; yali talina mirembe.

Albert si ye yekka ayise mu mbeera efaananako bw’etyo. Abantu bukadde na bukadde nabo bagezezaako enkola z’eby’obufuzi ezitali zimu, obufirosoofo, n’amadiini ag’enjawulo nga banoonya ekigendererwa mu bulamu. Ng’ekyokulabirako ab’ekibiina ky’Abahipi ekyacaaka ennyo mu Bulaaya mu myaka gya 1960, baawakanya emitindo gy’empisa era ne beeteerawo egyabwe ku bwabwe. Naddala abavubuka abaali mu kibiina ekyo banywanga enjaga era ne bagoberera obufirosoofo bw’abasomesa ne bakabona b’ekibiina ekyo nga baagezaako okunoonya essanyu n’ekigendererwa mu bulamu. Kyokka, tebaasobola kufuna ssanyu lya nnamaddala. Mu kifo ky’ekyo, abavubuka baafuuka banywi ba njaga, bakaba, ne kiviirako omulembe ogwo okuddirira ennyo mu by’empisa.

Okumala ebyasa by’emyaka, abantu bangi bagezezzaako okufuna essanyu nga banoonya eby’obugagga, obuyinza, oba nga bafuna obuyigirize obwa waggulu ennyo. Naye, ebyo byonna tebisobodde kubaleetera ssanyu. Yesu yagamba: “Obulamu bw’omuntu si by’ebintu ebingi by’aba nabyo.” (Lukka 12:15) N’olwekyo, okululunkanira eby’obugagga si kye kireeta essanyu. Baibuli egamba: “Abaagala okugaggawala bagwa mu kukemebwa ne mu mutego n’okwegomba okungi okw’obusirusiru okwonoona, okunnyika abantu mu kubula n’okuzikirira. Kubanga okwagala ebintu kye kikolo ky’ebibi byonna; waliwo abantu abayaayaanira ebyo, . . . ne beefumitira ddala n’ennaku ennyingi.”​—1 Timoseewo 6:9, 10.

Kati olwo, omuntu ayinza atya okufuna emirembe era n’aba n’ekigendererwa mu bulamu? Abamu balowooza nti tekisoboka. Naye ddala, baba batuufu? N’akatono. Nga bwe tujja okulaba mu kitundu ekiddako, omuntu okusobola okufuna emirembe mu mutima kyesigamye ku kukola ku bwetaavu bw’alina obw’enjawulo.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 3]

Eby’obugagga, obuyinza, n’okufuna obuyigirize obwa waggulu binaakuyamba okufuna emirembe mu mutima?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza