LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w05 3/1/05 lup. 3-4
  • Ennyombo—Lwaki Si Nnungi?

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Ennyombo—Lwaki Si Nnungi?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
  • Laba Ebirala
  • Okulwanagana Kulikoma Ddi?—Kiki Bayibuli ky’Egamba?
    Ensonga Endala
  • ‘Luubirira Ebintu Ebireeta Emirembe’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Lwaki Ffe Tetulwana Ntalo ng’Abayisirayiri ab’Edda bwe Baakolanga?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2022
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
w05 3/1/05 lup. 3-4

Ennyombo​—Lwaki Si Nnungi?

“Entalo ziva wa n’okulwana kuva wa mu mmwe?”​—YAKOBO 4:1.

EKIBUUZO ekyo waggulu omuwandiisi wa Baibuli Yakobo yali takyolekeza magye g’Abaruumi agaali galwana mu kiseera ekyo; oba okuba nti yali ayagala kumanya ekigendererwa kya bannalukalala Abayudaaya abaayitibwanga Sicarii, abaaliwo mu kyasa ekyasooka. Wabula, Yakobo yali ayogera ku bukuubagano obuyinza okubaawo wakati w’abantu nga babiri. Lwaki? Kubanga okufaananako entalo, obukuubagano nabwo bwa kabi. Weetegereze bino ebyogerwako mu Baibuli.

Batabani ba Yakobo baakyawa nnyo muganda waabwe Yusufu ne batuuka n’okumutunda mu buddu. (Olubereberye 37:4-28) Nga wayise ekiseera, Kabaka Sawulo yagezaako okutta Dawudi. Lwaki? Kubanga yamukwatirwa obuggya. (1 Samwiri 18:7-11; 23:14, 15) Mu kyasa ekyasooka, abakazi babiri Ewodiya ne Suntuke, baalina enkaayana ezatabangula emirembe gy’ekibiina.​—Abafiripi 4:2.

Mu biseera eby’emabegako, abasajja bwe baabeeranga n’obutategeeragana, buli omu yagyirangayo munne ekitala oba emmundu. Emirundi egisinga omu ku bo yattibwanga oba okutuusibwako ebisago eby’amaanyi. Ennaku zino, abantu bwe babeera n’obutategeeragana, bawaanyisiganya buwanyisiganya bigambo ebirumya. Wadde omusaayi guyinza obutayiibwa, ebigambo ng’ebyo bikosa enneewulira y’omuntu oba biyinza okwonoona erinnya lye. Emirundi mingi n’abatalina musango bazingirwa mu ‘nnyombo’ nga zino.

Lowooza ku ekyo ekyaliwo emyaka mitono egiyise omwawule omu bwe yanenya mwawule munne olw’okukozesa obubi ssente z’ekkanisa. Baafuna obutategeeragana era abantu abalala mu kkanisa bwe baakimanya baatandika okwekutulamu. Abamu baatuukanga n’obutagenda mu kkanisa bwe baategeeranga nti omwawule gwe batakiriziganya naye y’agenda okukulembera okusinza. Obukyayi bwali bwa maanyi nnyo n’ekiba nti bwe baasisinkananga mu kanisa, buli omu yatunulanga kya muli. Omwawule eyali anenya munne olw’okukozesa obubi ssente z’ekkanisa naye bwe yanenyezebwa olw’okwenyigira mu bugwenyufu, oluyombo lwakwata wansi ne waggulu.

Ssaabalabirizi we Canterbury yasaba abaawule abo okukomya oluyombo olwo ng’agamba nti lwali lufuuse “kookolo” era nti “engeri gye baali beeyisaamu yali teweesa Mukama Waffe kitiibwa.” Mu 1997 omu ku bakabona abo yakkiriza okuwummuzibwa. Kyokka, omulala yalemera ku bwawule okutuusa ekiseera kye eky’okuwummula lwe gyatuuka ng’awezezza emyaka 70 egy’obukulu nga Agusito 7, 2001. Olupapula oluyitibwa The Church of England Newspaper lwagamba nti olunaku olwo lwe lwali olw’okujjuukirirako “Omutuukirivu” Victricius. Victricius “Omutuukirivu” ye yali ani? Yali mulabirizi eyaliwo mu kyasa eky’okuna agambibwa okuba nti yakubibwa emiggo olw’okugaana okwenyigira mu ntalo. Nga lugeraageranya engeri z’omwawule ono n’omutuukirivu Victricius, olupapula lw’amawulire olwo lwagamba nti: “Omwawule ono eyali awumudde emirimu gye yali tayinza kwewala kulwana na mwawule munne obutafaananako Victricius eyagaana okwenyigira mu ntalo z’eddiini.”

Abaawule abo bandisobodde okwewala emitawaana gye beetuusaako ne gye baatuusa ku balala singa baakolera ku kubuulirira okuli mu Abaruumi 12:17, 18: “Temuwalananga muntu kibi olw’ekibi. Mwetegekenga ebirungi mu maaso g’abantu bonna. Oba nga kiyinzika, ku luuyi lwammwe, mutabaganenga n’abantu bonna.”

Ate kiri kitya eri ggwe? Singa omuntu akunyiiza, wanditandise okuwanyisiganya naye ebigambo? Oba wandifubye okugonjoola ensonga? Singa obaako omuntu gw’onyiiza, ogezaako okumwewala ng’olowooza nti oluvannyuma lw’ekiseera ajja kwerabira kye wamukola? Oba omwetondera amangu ddala? Okwetondera omuntu oba okusonyiwa oyo aba akukoze ekibi, kikuleetera emirembe mu mutima. Ekitundu ekiddako kijja kulaga engeri okubuulirira kwa Baibuli gye kusobola okutuyamba okumalawo obutategeeragana obuyinza okuba nga bubaddewo okumala ekiseera ekiwanvu.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza