LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w04 10/1 lup. 3-4
  • Eky’Obusika Ekikakafu

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Eky’Obusika Ekikakafu
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
  • Laba Ebirala
  • Kirisoboka Kitya ‘Abawombeefu Okusikira Ensi’?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
  • Kuuma Obusika Bwo obw’Omuwendo
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2021
  • Ebirimu
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • Obusika Bwaffe obw’Omuwendo—Butegeeza Ki gy’Oli?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
Laba Ebirara
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
w04 10/1 lup. 3-4

Eky’Obusika Ekikakafu

“SINGA ofuna ebbaluwa okuva eri omuntu ng’akugamba nti waliwo eky’obusika ekiri mu mannya go, weegendereze. Kyandiba nti omuntu oyo ayagala kukubba.”

Kuno kwe kulabula ekitongole ekiyitibwa United States Postal Inspection Service kwe kyawa okuyitira ku mukutu gwakyo ogw’oku Internet. Lwaki? Kubanga abantu nkumi na nkumi baali bafunye amabaluwa agagamba nti, ‘Omu ku b’eŋŋanda zo afudde naye akulekedde eby’obusika.’ Ekyavaamu, bangi baaweereza doola 30 oba n’okusingawo basobole okutegeezebwa kalonda yenna akwata ku by’obusika ebyo, wa we bisangibwa, oba n’engeri y’okubifunamu. Eky’ennaku, baalimbibwa. Bonna baategeezebwa ekintu kye kimu, naye tewaaliwo ssuubi lyonna lya kufuna bya busika ebyo.

Kyangu okulimba abantu mu ngeri ng’eyo olw’okuba baagala nnyo okufuna eby’obusika. Kyokka, Baibuli eyogera bulungi ku abo abagaba eby’obusika bw’egamba nti: “Omuntu omulungi alekera obusika abaana be.” (Engero 13:22) Amazima gali nti, Yesu Kristo kennyini ye yayogera ku nsonga ey’obusika mu Kubuulira kwe okw’Oku Lusozi bwe yagamba: “Balina omukisa abateefu, kubanga abo balisikira ensi.”​—Matayo 5:5.

Ebigambo bya Yesu ebyo bitujjukiza ekyo Kabaka Dawudi owa Isiraeri ey’edda kye yaluŋŋamizibwa okuwandiika: “Abawombeefu balisikira ensi; era banaasanyukiranga emirembe emingi.”​—Zabbuli 37:11.

‘Okusikira ensi’​—essuubi eryo nga libuguumiriza! Naye, tuyinza okuba abakakafu nti eyo si ngeri ndala ya kulimbamu bantu? Yee, tuyinza okuba abakakafu. Okuva ensi bw’eri ekimu ku bintu Yakuwa bye yatonda, ayinza okugiwa omuntu yenna gw’aba ayagadde ng’eky’obusika. Mu bunnabbi bwe yawa Kabaka Dawudi, Yakuwa yagamba bw’ati omwana We omwagalwa Yesu Kristo: “Onsabe nze, nange ndikuwa amawanga okubeera obusika bwo, n’ensonda ez’ensi okubeera amatwale go.” (Zabbuli 2:8) Olw’ensonga eyo, omutume Pawulo yayogera ku Yesu nti “[Katonda] gwe yassaawo okuba omusika wa byonna.” (Abaebbulaniya 1:2) N’olwekyo, tuyinza okuba abakakafu nti Yesu bwe yagamba nti abawombeefu “balisikira ensi,” yakyogera mu bwesimbu ate era alina n’obuyinza okutuukiriza ekisuubizo kye.​—Matayo 28:18.

N’olwekyo ekibuuzo ekikulu kiri nti, Ekisuubizo ekyo kirituukirizibwa kitya? Kirabika nti buli wamu abantu abakambwe era abeerowoozaako be bafuna kye baagala. Olwo abawombeefu bo balisikira ki? Okwongereza ku ekyo, ensi kwe tuli eyonooneddwa nnyo era eby’obugagga byayo bikozesebwa bubi abantu ab’omulugube era abatalaba wala. Ensi eriba eky’agwanira okusikirwa? Tukusaba osome ekitundu ekiddako osobole okuzuula eky’okuddamu mu bibuuzo bino era n’ebirala bingi ebikulu.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 3]

Onoosobola okufuna obusika obwa nnamaddala?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza