LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w03 4/1 lup. 3
  • Eky’Ekiro Ekyasembayo Kye Ki?

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Eky’Ekiro Ekyasembayo Kye Ki?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2003
  • Laba Ebirala
  • Eky’Ekiro kya Mukama Waffe Kirina Amakulu Mangi gy’Oli
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2003
  • Eky’Ekiro kya Yesu Ekyasembayo
    Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Omukolo gw’Otosaanidde Kusubwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Lwaki Engeri Abajulirwa ba Yakuwa gye Bakuzaamu Omukolo gw’eky’Ekiro kya Mukama Waffe Eyawukana ku y’Amadiini Amalala?
    Ebibuuzo Ebikwata ku Bajulirwa ba Yakuwa Abantu Bye Batera Okwebuuza
Laba Ebirara
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2003
w03 4/1 lup. 3

Eky’Ekiro Ekyasembayo Kye Ki?

EKY’EKIRO ekyasembayo kye ki, era kirina makulu ki eri abantu abaliwo leero mu kyasa ekya 21? Ebitabo ebinnyonnyola amakulu g’ebigambo bijja kukutegeeza nti, Eky’Ekiro Ekyasembayo era ekiyitibwa Eky’Ekiro kya Mukama waffe, kye kijjulo Yesu kye yaliira awamu n’abatume be akawungeezi ako nga tannaba kuwaayo bulamu bwe nga ssaddaaka. Olw’okuba kye ky’ekiro Yesu kye yasembayo okuliira awamu n’abagoberezi be abeesigwa, kimanyiddwa ng’Eky’Ekiro Ekyasembayo. Ate era olw’okuba kyatandikibwawo Mukama waffe Yesu Kristo kennyini, erinnya Eky’Ekiro kya Mukama Waffe lituukirawo bulungi.

Okumala ebyasa bingi, bangi bawaddeyo obulamu bwabwe olw’ebyo bye batwala okuba ebikulu ennyo. Okufa kw’abamu ku abo kulina be kwaganyula okumala ekiseera. Kyokka tewaliiwo kufa kwonna okw’engeri eyo, ka kube nti kutenderezebwa kutya, kuyinza kugeraageranyizibwa ku kufa kwa Yesu Kristo. Ate era tewaliwo kufa kwa muntu yenna mu byafaayo by’olulyo lw’omuntu okuyinza okubaako eky’amaanyi kye kukola ku bantu mu nsi yonna. Lwaki?

Okusobola okuddamu ekibuuzo ekyo, n’okukuyamba okutegeera Eky’Ekiro kya Mukama Waffe kye kitegeeza gy’oli, tukukubiriza okusoma ekitundu ekiddako.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza