Enzikiriza z’Eddiini Zandyesigamiziddwa ku Busobozi bw’Okulowooza?
“Waliwo abantu bangi nnyo abagoberera obugoberezi enzikiriza z’eddiini zaabwe nga baagala okwewala okulowooza,” bw’atyo omusomesa mu Seminaliyo emu ey’omu Amerika bwe yawandiika. Agattako nti: “Baagala kukkiriza bukkiriza buli kimu awatali kusooka kukikakasa.”
KINO kitegeeza nti abantu bangi abagamba nti bakkiririza mu njigiriza z’eddiini zaabwe tebalowooza n’akamu ku nsonga lwaki bazikkiririzaamu naddala oba nga zeesigamiziddwa ku musingi omunywevu. Eyo y’ensonga lwaki tekyewuunyisa nti abantu bangi tebaagala kwogera ku bikwata ku ddiini.
Eky’ennaku, ebintu ng’okukozesa ebifaananyi mu kusinza n’okusoma essaala ng’ekitontome, tebireetera muntu kulowooza mu ngeri ezimba. Kyokka, ebikolwa ng’ebyo nga mw’otwalidde n’okuzimba amasinzizo ag’amatiribona wamu n’ennyimba ezikyamula, bye bintu ebitwalibwa okuba ng’ebikulu mu madiini. Wadde ng’amakanisa agamu gagamba nti okukkiriza kwago kwesigamiziddwa ku Baibuli, obubaka bwago obugamba nti ‘kkiriza bukkiriza Yesu olokoke’ tebuteeka ssira ku kusoma Baibuli mu ngeri ematiza. Abalala bye babuulira bissa essira ku kukola ku bizibu bya bantu oba ku bya bufuzi. Bino byonna bivuddemu ki?
Ku bikwata ku mbeera bw’eri mu Amerika ow’Omu Mambuka, omuwandiisi w’eby’eddiini omu yagamba: “Obukristaayo . . . bulabika nga bwa kungulu, era ababukkiririzaamu tebayigiriziddwa bulungi nzikiriza za ddiini zaabwe.” Omu ku abo abanoonyereza nga babuuza abantu ebibuuzo ye yatuuka n’okugamba nti Amerika “nsi y’abantu abatamanyi biri mu Baibuli.” Mu butuufu ebyogeddwa waggulu bikwata ne ku nsi endala omuli Obukristaayo. Amadiini mangi agatali Makristaayo nago tegakubiriza bantu baago kulowooza n’amagezi ku nsonga, wabula, essira galiteeka ku bintu ebiteetaagisa kulowooza gamba ng’okuyimba ennyimba, n’okusoma essaala.
Kyokka, mu bulamu bwabwe obwa bulijjo, abantu be bamu bano abatafaayo ku butuufu bw’ebyo bye bakkiririzaamu, bafumiitiriza n’obwegendereza ku nsonga endala. Tekikwewuunyisa nti omuntu akola okunoonyereza okw’amaanyi ku kugula obuguzi emmotoka egenda okusensebuka enkya eggweewo, ayogera bw’ati ku bikwata ku ddiini: ‘Bwe kiba nti bazadde bange baagisiima nange ngisiima’?
Bwe tuba nga ddala twagala okusanyusa Katonda, tetwandyekenneenyezza bye tukkiriza ne tulaba oba nga bituufu? Omutume Pawulo yayogera ku bannaddiini abamu abaaliwo mu nnaku ze ‘abaanyiikirira Katonda naye si mu kumanya okutuufu.’ (Abaruumi 10:2) Abantu nga abo bayinza okugeraageranyizibwa ku muntu apangisiddwa okusiiga ennyumba langi, era n’akola n’amaanyi wabula ng’akozesa langi nkyamu olw’okuba tawulirizza biragiro bya nnannyini nnyumba. Omusiizi wa langi ono ayinza okusanyukira omulimu gwe, naye nnannyini nnyumba anaasanyuka?
Kiki Katonda kyakkiriza bwe bituuka ku kusinza okw’amazima? Baibuli eddamu: “Ekyo kye kirungi, ekikkirizibwa mu maaso g’Omulokozi waffe, Katonda, ayagala abantu aba buli kika okulokolebwa n’okutuuka ku kumanya okutuufu okw’amazima.” (1 Timoseewo 2:3, 4, NW) Abamu bayinza okugamba nti tekisoboka kufuna kumanya bwe kutyo mu madiini amangi agaliwo leero. Naye fumiitiriza ku kino: Bwe kiba nti Katonda ayagala abantu aba buli kika bafune okumanya okutuufu okw’amazima, kyandibadde kya bwenkanya bwe yandibakwese amazima agamukwatako? Si bwe kiri, okusinziira ku Baibuli egamba bw’eti: ‘Bw’onoonoonyanga Katonda, anaalabikanga gy’oli.’—1 Ebyomumirembe 28:9.
Katonda amanyisa atya ebimukwatako eri abo abamunoonya n’obwesimbu? Ekitundu ekiddako kijja kuddamu ekibuuzo ekyo.