Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
Abakristaayo leero bakwatibwako kwenkana wa okukugira okukwata ku bufumbo wakati w’ab’eŋŋanda okuli mu Mateeka ga Musa?
Amateeka Yakuwa ge yawa eggwanga lya Isiraeri googera kitono ku mikolo n’enkola ey’okugoberera mu by’obufumbo. Kyokka, gagaana obufumbo obumu. Ng’ekyokulabirako, Eby’Abaleevi 18:6-20, zoogera ku kwetaba wakati ‘w’ab’eŋŋanda ab’oku lusegere’ okutakkirizibwa. Ebyawandiikibwa ebyo bimenya ab’eŋŋanda abatateekwa kwetaba wamu. Kya lwatu, Abakristaayo tebali wansi w’Amateeka ga Musa era tebateekeddwa kugagoberera. (Abaefeso 2:15; Abakkolosaayi 2:14) Wadde kiri kityo, ekyo tekitegeeza nti Abakristaayo bayinza okubuusa amaaso ensonga eno nga balonda ow’okufumbiriganwa naye. Waliwo ensonga eziwerako lwaki kiri kityo.
Okusooka, waliwo amateeka g’ensi agakugira obufumbo wakati w’ab’eŋŋanda ab’oku lusegere, era Abakristaayo balina okugondera amateeka g’ensi gye babeeramu. (Matayo 22:21; Abaruumi 13:1) Kya lwatu, amateeka ng’ago gaawukana mu bifo ebitali bimu. Amateeka ag’ekika kino ag’omu kiseera kyaffe okusingira ddala geesigamye ku buzaale obw’ensikirano. Kimanyiddwa nti obufumbo wakati w’ab’eŋŋanda ab’oku lusegere buyinza okuleetera abaana baabwe okufuna endwadde ez’ensikirano. Olw’ensonga eno, era n’okuba nti ‘bagondera ab’obuyinza abafuga,’ Abakristaayo abafumbiriganwa bagondera amateeka agakwata ku bufumbo mu kitundu gye babeera.
Ate waliwo ensonga ekwata ku ekyo ekikkirizibwa n’ekitakkirizibwa mu kitundu omuntu gy’abeera. Kumpi buli kitundu kiba n’amateeka era n’obulombolombo ebigaana obufumbo wakati w’abantu abalina oluganda olw’oku lusegere, era ng’obufumbo ng’obwo butwalibwa ng’ekikolwa eky’ekivve. Wadde ng’obulombolombo obukwata ku nsonga eyo buyinza okwawukana ennyo mu bitundu ebitali bimu, “okutwalira awamu, abantu ababiri gye bakoma okubeera n’oluganda olw’okumpi, gye kikoma n’okubeera eky’ekivve okwetaba awamu,” bw’etyo The Encyclopædia Britannica, bw’egamba. Bwe kityo nno, Abakristaayo ne bwe batafumbiriganwa na wa luganda ow’oku lusegere, tebalina kubuusa maaso bulombolombo obugobererwa oba enneewulira z’abantu abali mu kitundu, baleme kuleeta kivume ku kibiina Ekikristaayo oba ku linnya lya Katonda.—2 Abakkolinso 6:3.
Ekitalina kubuusibwa maaso, ye muntu waffe ow’omunda. Abantu bonna bazaalibwa nga balina obusobozi bw’okumanya ekituufu n’ekikyamu, ekirungi n’ekibi. (Abaruumi 2:15) Okuggyako ng’omuntu waabwe ow’omunda yayonooneka oba nga yaguba olw’ebikolwa eby’obugwenyufu, yandibadde asobola okubategeeza ekirungi era ekisaanira, n’ekitali kya mu butonde era ekibi. Yakuwa yayogera ku nsonga eno bwe yawa Abaisiraeri amateeka ge agakugira obufumbo wakati w’ab’eŋŋanda ab’oku lusegere. Tusoma: “Ng’ebikolwa bwe biri eby’omu nsi y’e Misiri, gye mwatuulangamu, temukolanga bwe mutyo: era ng’ebikolwa bwe biri eby’omu mu nsi ya Kanani, gye ndibatuusaamu, temukolanga bwe mutyo: so temutambuliranga mu mateeka gaabwe.” (Eby’Abaleevi 18:3) Abakristaayo batwala omuntu waabwe ow’omunda eyeesigamiziddwa ku Baibuli nga wa muwendo, era tebamukkiriza kwonoonebwa mitindo gy’ensi egy’ekituufu n’ekikyamu.—Abaefeso 4:17-19.
Kati olwo, tuyinza kuwunzika tutya? Wadde Nga Abakristaayo tebali wansi w’amateeka ga Musa, omuntu waabwe ow’omunda abategeeza bulungi nti obufumbo wakati w’ab’eŋŋanda ab’oku lusegere—gamba nga wakati wa taata ne muwala we, maama ne mutabani we, omusajja ne mwannyina—tebukkirizibwa mu Bakristaayo.a Oluganda olw’omusaayi bwe lugenda lugaziwa, Abakristaayo era balina okukitegeera nti waliwo amateeka agafuga obufumbo era nti waliwo emitindo egikkirizibwa mu mpisa y’ekitundu. Ebyo tebirina kusuulibwa muguluka bwe tuba ab’okutuukagana n’okubuulirira kw’omu Byawandiikibwa: “Obufumbo bussibwengamu ekitiibwa abantu bonna.”—Abaebbulaniya 13:4, NW.
[Obugambo obuli wansi]
a Okumanya ebisingawo ku nsonga eno, laba ekitundu “Okufumbiriganwa Wakati w’Ab’Eŋŋanda ab’Oku Lusegere—Abakristaayo Bandikutunuulidde Batya?” mu The Watchtower, aka Maaki 15, 1978, empapula 25-6.