‘Mu Kitangaala Kyo Mwe Tulabira Ekitangaala’
KITANGAALA kye kintu kye tutatera kutwala ng’ekikulu ennyo okutuusa ng’amasannyalaze gavuddeko era nga n’ekitundu kyonna kikutte ekizikiza eky’amaanyi. Kyokka, eky’essanyu kiri nti, ensibuko y’ekitangaala kyaffe, enjuba, yo yeesigika. Era olw’ekitangaala ky’ewa, tusobola okulaba, okulya, okussa omuka era n’okubeerawo nga tuli balamu.
Okuva bwe kiri nti ekitangaala kikulu nnyo eri obulamu, tekyanditwewuunyisizza kusoma mu Olubereberye nti ekitangaala kyaleetebwawo ku lunaku olwasookera ddala olw’okutonda ebintu. ‘Katonda n’ayogera nti: ‘Wabeewo ekitangaala. Ne wabaawo ekitangaala.’ (Olubereberye 1:3, NW) Abantu abatya Katonda nga Kabaka Dawudi, bulijjo babadde bamanyi nti Yakuwa ye nsibuko y’obulamu n’ekitangaala. Dawudi yawandiika: ‘Gwe Nsibuko y’obulamu. Mu kitangaala kyo mwe tulabira ekitangaala.’—Zabbuli 36:9, NW.
Era ebigambo bya Dawudi tuyinza n’okubitegeera mu ngeri ey’akabonero. Ekitabo Encyclopædia Britannica kigamba: “Ekitangaala kitusobozesa okulaba.” Era kyongerezaako ne kigamba: “Obubaka obusinga obungi butuuka mu bwongo bw’omuntu okuyitira mu kulaba.” Okuva ebintu bingi bye tuyiga bwe byesigamye ku busobozi bwaffe obw’okulaba obwetaaga ekitangaala okusobola okukola obulungi, ekitangaala era kikozesebwa mu ngeri ey’akabonero mu Byawandiikibwa.
N’olwekyo, Yesu yagamba abayigirizwa be: ‘Nze kitangaala ky’ensi. Angoberera taatambulirenga mu kizikiza, naye anaabeeranga n’ekitangaala eky’obulamu.’ (Yokaana 8:12, NW) Ekitangaala eky’akabonero Yesu kye yayogerako bwali obubaka obw’amazima ge yabuulira, obwali busobola okwakira mu birowoozo ne mu mitima gy’abantu abaali bamuwuliriza. Oluvannyuma lw’emyaka mingi nga bali mu kizikiza eky’eby’omwoyo, kati abayigirizwa ba Yesu baali basobola okutegeera ekigendererwa kya Katonda eri abantu n’essuubi ly’Obwakabaka. Mazima ddala, ekyo kyali ‘kitangaala eky’obulamu,’ okuva bwe kyali kisobola okubatuusa mu bulamu obutaggwaawo. Yesu yagamba bw’ati mu kusaba kwe eri Kitaawe ow’omu ggulu: “Buno bwe bulamu obutaggwaawo okutegeera gwe Katonda omu ow’amazima, n’oyo gwe watuma Yesu Kristo.” (Yokaana 17:3) Ka tuleme kutwala kitangaala kino eky’eby’omwoyo ng’ekintu ekitali kikulu!