LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w01 12/1 lup. 29-30
  • Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
  • Laba Ebirala
  • Yayoleka Obuvumu ne Yeenenya
    Yoleka Obuvumu ng’Oweereza Katonda
  • Oyonoonye eri Omwoyo Omutukuvu?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
  • Oganyulwa Otya mu Kuba nti Yakuwa Asonyiwa?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • Okwenenya mu Bwesimbu Kuzingiramu Ki?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2021
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
w01 12/1 lup. 29-30

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Ekiragiro kya Katonda ekiri mu Yeremiya 7:16 kitegeeza nti Abakristaayo tebandisabidde muntu agobeddwa mu kibiina olw’okubanga mwonoonyi ateenenyezza?

Ng’amaze okulangirira omusango gwe yali asalidde abantu b’omu Yuda abataali beesigwa, Yakuwa yagamba Yeremiya: “Kale tosabiranga bantu bano, so tobayimusizanga kukaaba newakubadde okusaba, so tonneegayiriranga okuwolereza, kubanga siikuwulire.”​—Yeremiya 7:16.

Lwaki Yakuwa yagaana Yeremiya okusabira Abaisiraeri? Olw’okubanga baamenyanga Amateeka ge mu bugenderevu. ‘Babbanga mu lwatu, era ne batta, ne benda, ne balayirira eby’obulimba, ne bootereza obubaane eri Baali, era ne bagoberera bakatonda abalala be bataamanyanga.’ N’olw’ensonga eyo, Yakuwa yagamba Abayudaaya abataali beesigwa: “Era ndibasuula okuva mu maaso gange, nga bwe nnasuula baganda bammwe bonna, ezzadde lyonna erya Efulayimu.” Mazima ddala, kyandibadde tekisaana eri Yeremiya oba omuntu omulala yenna okusaba Yakuwa akyuse omusango gwe yali amaze okusala.​—Yeremiya 7:9, 15.

Nga kituukagana n’ensonga eyo, omutume Yokaana yawandiika ebikwata ku kusaba okusaanidde eri Katonda. Okusooka, yakakasa Abakristaayo: ‘Bwe tusaba ekintu ekituukagana ne by’ayagala, atuwulira.’ (1 Yokaana 5:14, NW) Ate ku bikwata ku kusabira abalala, Yokaana yeeyongerayo n’agamba: “Omuntu yenna bw’alabanga muganda we ng’akola ekibi ekitali kya kufa, anaasabanga, ne Katonda anaamuweeranga obulamu abo abakola ekibi ekitali kya kufa. Waliwo ekibi eky’okufa: ekyo si kye njogerako okukyegayiririranga.” (1 Yokaana 5:16). Era Yesu yayogera ku kibi ‘ekitalisonyiyika,’ ng’ekibi ekyo kwe kuvvoola omwoyo omutukuvu.​—Matayo 12:31, 32.

Ekyo kitegeeza nti abo bonna abagobebwa okuva mu kibiina Ekikristaayo olw’okwonoona ne bateenenya baba bakoze ekibi “eky’okufa,” era olw’ensonga eyo baba tebagwanidde kusabirwa? Ekyo si bwe kyandibadde kubanga mu ngeri ezimu ebibi ng’ebyo tebiba bya ‘kufa.’ Mu butuufu, kiba kizibu okumanya obanga biba bya kufa. Ekyokulabirako ekirungi ye Kabaka wa Yuda Manase. Yazimbira bakatonda ab’obulimba ebyoto, yawaayo abaana be nga ssaddaaka, yakolanga eby’obulogo era n’ateeka ebifaananyi ebyole mu yeekaalu ya Yakuwa. Mu butuufu, Baibuli egamba nti Manase n’abantu baakola “ebibi okusinga amawanga bwe gaakolanga, Mukama ge yazikiririza mu maaso g’abaana ba Isiraeri.” Yakuwa yabonereza Manase olw’ebyo byonna bye yakola, n’amuleka okutwalibwa mu buwambe e Babulooni ng’asibiddwa enjegere.​—2 Bassekabaka 21:1-9; 2 Ebyomumirembe 33:1-11.

Wadde ng’ensobi za Manase zaali za maanyi nnyo bwe zityo, zaali za kufa? Si bwe kiri, kubanga ebyawandiikibwa byeyongera okumwogerako bwe biti: “Awo [Manase] bwe yalaba ennaku, ne yeegayirira Mukama Katonda we ne yeetoowaza nnyo mu maaso ga Katonda wa bajjajjaabe. N’amusaba; ne yeegayirirwa ye n’awulira okwegayirira kwe n’amukomyawo e Yerusaalemi mu bwakabaka bwe. Awo Manase n’amanya Mukama nga ye Katonda.”​—2 Ebyomumirembe 33:12, 13.

N’olwekyo, tetusaanidde kwanguyiriza kugamba nti omuntu akoze ekibi eky’okufa olw’okuba agobeddwa mu kibiina. Kiyinza okutwala ekiseera embeera ennungi ey’omutima gw’omuntu okweyoleka. Mu butuufu, ekimu ku kigendererwa ky’okugoba omuntu okuva mu kibiina kwe kuleetera omwonoonyi oyo okwekuba mu kifuba era nga kisuubirwa nti ajja kwenenya era akyuke.

Okuva omuntu oyo bw’aba nga takyali mu kibiina, enkyukakyuka yonna gy’aba akoze mu mutima gwe oba mu ndowooza ye okusookera ddala eyinza okulabibwa abo abamuli ku lusegere, gamba nga munne mu bufumbo oba omuntu omulala yenna ow’omu maka ge. Abo abalaba enkyukakyuka ng’ezo bayinza okugamba nti omuntu oyo teyakola kibi kya kufa. Bayinza okumusabira nti afune amaanyi okuva mu Kigambo kya Katonda ekyaluŋŋamizibwa era nti Yakuwa abeeko ky’akola ku lw’omwonoonyi oyo okusinziira ku by’Ayagala.​—Zabbuli 44:21; Omubuulizi 12:14.

Wadde ng’abamu bayinza okufuna obujulizi obumala era obubaleetera okukkiriza nti omwonoonyi yeenenyezza, kiyinza obutaba bwe kityo eri ekibiina kyonna okutwalira awamu. Bayinza okusoberwa era n’okwesittala singa bawulira nga waliwo asabira omwonoonyi oyo mu lujjudde. N’olw’ensonga eyo, abo abandyagadde okusabira omwonoonyi oyo, basaanidde okukikola nga bali bokka, ensonga endala bazirekere abakadde b’ekibiina okuzikolako.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 30]

Manase yasonyiyibwa ebibi bye eby’amaanyi bwe yeetoowaza mu maaso ga Yakuwa

[Ensibuko y’ekifaananyi ekiri ku lupapula 29]

Kigiddwa mu Illustrirte Pracht-Bibel/Heilige Schrift des Alten und Neuen Testaments, nach der deutschen Uebersetzung D. Martin Luther’s

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza