LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w01 10/1 lup. 32
  • Bakozesa Erinnya lya Katonda mu Afirika ow’Omu Masekkati

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Bakozesa Erinnya lya Katonda mu Afirika ow’Omu Masekkati
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
w01 10/1 lup. 32

Bakozesa Erinnya lya Katonda mu Afirika ow’Omu Masekkati

ABANTU abasinga obungi mu Afirika ow’Omu Masekkati bakkiririza mu Katonda. Tebabuusabuusa nti ye Mutonzi w’ebintu byonna. (Okubikkulirwa 4:11) Kyokka, nga bwe kiri eri abantu bangi mu bifo ebirala, batera okubuusa amaaso erinnya lye, Yakuwa.

Abantu mu Afirika ow’Omu Massekati, ne mu bitundu ebirala eby’ensi, boogera ku linnya lya Katonda bwe bagamba, “Erinnya lyo litukuzibwe” mu Saala ya Mukama waffe. (Matayo 6:9) Naye, okumala ekiseera kiwanvu, batono nnyo ababadde bamanyi erinnya eryo. Kyokka, emyaka bwe gizze giyitawo, omulimu gw’Abajulirwa ba Yakuwa ogw’okubuulira gukyusizza endowooza abantu gye balina ku linnya lya Katonda ne kibaleetera okutandika okulikozesa. Leero, erinnya lya Katonda limanyiddwa nnyo era likozesebwa mu nnimi nnyingi ez’omu Afirika, gamba nga Oluzulu (uJehova), Oluyoruba ((Jehofah), Xhosa ((uYehova) ne mu Luswayiri (Yehova). Kyokka, enkyusa za Baibuli nnyingi eziri mu nnimi ezo, zikyewala okukozesa erinnya lya Katonda.

Enkyusa emu ennungi eya Baibuli ekozesa erinnya lya Katonda, y’eri mu lulimi Oluzande. Olulimi olwo lwogerwa mu bitundu ebimu eby’omu Afirika ow’Omu Masekkati, Sudan ne Democratic Republic of Congo. Mu kitundu ekyo, abantu bakozesa erinnya lya Katonda, era mu lulimi lwabwe baliwandiika nga Yekova. Ka libe nti liwandiikibwa litya mu lulimi olwogerwa mu kitundu, ekikulu kwe kukozesa erinnya lya Katonda. Lwaki? Kubanga ‘buli alikaabirira erinnya lya Yakuwa alirokolebwa.’​—Abaruumi 10:13.

[Mmappu/Ekifaananyi eri ku lupapula 32]

(For fully formatted text, see publication)

SUDAN

AFIRIKA OW’OMU MASEKKATI

DEMOCRATIC REPUBLIC OF CONGO

[Ensibuko y’ekifaananyi]

The Complete Encyclopedia of Illustration/​J. G. Heck

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza