Twali Misege Kaakano Tuli Ndiga!
Bwe twali abawala abato, nze ne Sakina twali ba muliraano. Sakina yali munene ng’ate muggumivu, kyokka nze, nnali mutono ddala. Emirundi mingi twateranga okuyomba, naye lumu twalwanira ddala nnyo. Okuva ku olwo, buli omu teyaddamu kwogera na munne wadde okumubuuza. Ekiseera kyatuuka ffembi ne tuva mu kitundu ekyo era buli omu teyamanya munne gye yalaga.
Mu 1994, nnatandika okuyiga Baibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa, era mpolampola empisa zange ne zikyuka. Nga wayiseewo emyaka ena, bwe nnali mu lukuŋŋaana olw’enjawulo olw’olunaku olumu mu Bujumbura, e Burundi, nnawuniikirira nnyo bwe nnasisinkana Sakina. Nnasanyuka olw’okuba yaliwo mu lukuŋŋaana olwo, naye okulamusagana kwaffe tekwali kwa bbugumu. Nneewuunya okumulaba ng’ali mu abo abaali bagenda okubatizibwa ku olwo! Naye kennyini yali akyuse nnyo. Yali takyali muntu oli omukambwe gwe nnateranga okuyomba naye. Nga kyali kisanyusa nnyo okumulaba ng’ayoleka mu lujjudde okwewaayo kwe eri Katonda ng’abatizibwa!
Bwe yava mu mazzi, nnayanguwa mangu okumugwa mu kifuba era ne mukuba akaama: “Ojjukira bwe twalwanaanga?” N’agamba nti “Yee, nzijukira, naye ebyo byayita. Kati ndi muntu muggya.”
Ffembi tuli basanyufu olw’okuzuula amazima ga Baibuli, agagatta abantu awamu era n’okukyusa empisa zaffe ezaali ng’ez’emisege, ne tufuuka ng’endiga z’Omusumba ow’Ekitalo, Yakuwa Katonda. Mazima ddala, amazima ga Baibuli gakyusa obulamu bw’abantu.