LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w01 7/1 lup. 32
  • ‘Obulumi Obuleetebwa Mukwano Gwo’

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • ‘Obulumi Obuleetebwa Mukwano Gwo’
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
w01 7/1 lup. 32

‘Obulumi Obuleetebwa Mukwano Gwo’

OMUTUME Pawulo yalaba nga kyali kyetaagisa okuwabula Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka eky’omu Ggalatiya. Kirabika, olw’obutagala kubanyiiza, yababuuza: “Kale nfuuse mulabe wammwe nga mbabuulira amazima?”​—Abaggalatiya 4:16.

Mu ‘kubabuulira amazima,’ Pawulo yali tafuuse mulabe waabwe. Mu butuufu yali akolera ku musingi gwa Baibuli: ‘Obulumi obuleetebwa mukwano gwo bwesigwa.’ (Engero 27:6) Yamanya nti bandiwulidde bubi ng’abawabudde. Kyokka yali amanyi nti bw’atakangavvula mwonoonyi nga kyetaagisa, kyanditegeezeza nti omwonoonyi oyo talagiddwa kwagala kwa Yakuwa Katonda. (Abaebbulaniya 12:5-7) N’olwekyo, ng’ow’omukwano omwesigwa era eyali afaayo ku bulungi bw’ekibiina, Pawulo teyalema kubawabula.

Leero, Abajulirwa ba Yakuwa batuukiriza omulimu gwabwe ‘ogw’okufuula abantu abayigirizwa mu nsi yonna, nga babayigiriza okukwata byonna Yesu Kristo bye yalagira.’ Mu kukola bwe batyo, Abakristaayo banno abeesimbu bayigiriza amazima agali mu Baibuli agaanika era ne gavumirira enjigiriza enkyamu n’enneeyisa ezitali za Kikristaayo. (Matayo 15:9; 23:9; 28:19, 20; 1 Abakkolinso 6:9, 10) Mu kifo ky’okutunuulirwa ng’abalabe olw’okukola ekyo, mu butuufu baba booleka omukwano ogwa nnamaddala.

Ng’aluŋŋaamiziddwa Katonda, Omuwandiisi wa Zabbuli yawandiika: “Singa omutuukirivu ankuba, kyandibadde kya kisa; era singa ambuulirira, kyandibadde ng’amafuta ku mutwe gwange; era omutwe gwange tegwandigaganye.”​—Zabbuli 141:5, NW.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza