LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w00 11/1 lup. 7
  • Oyinza Okusemberera Katonda Atalabika?

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Oyinza Okusemberera Katonda Atalabika?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
  • Laba Ebirala
  • Omulimu Ogwatuleetera Essanyu Erya Nnamaddala
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • OIina Enkolagana ey’Oku Lusegere ne Katonda?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Yamba Bamuzibe Okuyiga Ebikwata ku Yakuwa
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2015
  • Olina Enkolagana ey’Oku Lusegere ne Yakuwa?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
Laba Ebirara
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
w00 11/1 lup. 7

Oyinza Okusemberera Katonda Atalabika?

‘Nnyinza ntya okukulaakulanya enkolagana ey’oku lusegere n’omuntu gwe siyinza kulaba?’ bw’otyo bw’oyinza okubuuza. Eyo eyinza okulabika ng’ensonga entuufu. Naye lowooza ku kino:

OKULABA kukulu kwenkana wa ku bikwata ku kukulaakulanya enkolagana ez’okwagala era ez’olubeerera? Ebitalabika nabyo tebyenkana bukulu, kabekasinge n’okusingawo? Mazima ddala bwe kiri! Olw’ensonga eyo, abantu abamu bakulaakulanyizza omukwano ogw’oku lusegere okuyitira mu kuwuliziganya​—amabaluwa gaabwe nga gooleka bye baagala, bye bataagala, ebiruubirirwa, emisingi, engeri yaabwe ey’okusaaga, n’engeri endala oba ebirala bye bassaako omwoyo.

Bamuzibe nabo bakyoleka nti okulaba si kukulu nnyo ku bikwata ku kukulaakulanya enkolagana ey’oku lusegere n’omuntu omulala. Lowooza ku ky’okulabirako kya Edward ne Gwen, abafumbo ate nga bamuzibe.a Edward yasisinkana Gwen mu ssomero lya bamuzibe, naye gye yali omuyizi. Yasiima engeri za Gwen, naddala obwesimbu mu njogera ye n’enneeyisa, n’endowooza ennungi ennyo gye yalina eri okukola. Ate ye Gwen yasikirizibwa eri Edward kubanga, okusinziira ku bigambo bya Gwen, “yayoleka engeri zonna ze nnayigirizibwa okutwala ng’enkulu.” Twatandika okwogerezeganya era oluvannyuma lw’emyaka esatu twafumbiriganwa.

“Bwe muba muli wamu,” bw’atyo Edward bw’agamba, “okubeera abazibe tekiremesa kukulaakulanya nkolagana n’omuntu omulala. Muyinza obutasobola kulabagana, naye zo enneewulira ziba weeziri.” Kaakati, oluvannyuma lw’emyaka 57, bakyayagalana nnyo. Bagamba nti ekiviiriddeko enkolagana yaabwe ennungi ennyo kizingiramu ebintu bina: (1) okutegeera engeri za munno, (2) okuzirowoozaako era n’okusikirizibwa eri engeri ezo, (3) okubeera n’empuliziganya ennungi, era (4) okukolera awamu ebintu.

Ensonga zino ennya nkulu nnyo mu nkolagana yonna ennungi, k’ebe wakati w’ab’omukwano, abafumbo, oba ekisingawo n’obukulu wakati w’abantu ne Katonda.

[Obugambo obuli wansi]

a Amannya gakyusiddwa.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza