LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w00 6/1 lup. 32
  • Okusigala ng’Onyweredde ku Yakuwa

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Okusigala ng’Onyweredde ku Yakuwa
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
w00 6/1 lup. 32

Okusigala ng’Onyweredde ku Yakuwa

OBUNYWEVU, wadde bwa kkekwa leero, ngeri eyolesebwa abaweereza ba Katonda ow’amazima, Yakuwa. Omuntu omunywevu asigala nga mugumu ng’agezesebwa era tasagaasagana ebiseera bwe bigenda biyitawo. Lowooza ku Kabaka Keezeekiya omulungi. “Oluvannyuma lwe ne wataba amufaanana mu bakabaka bonna aba Yuda so si mu abo abaamusooka,” bw’etyo Baibuli bw’egamba. Kiki ekyafuula Keezeekiya ow’enjawulo? ‘Yanywerera ku Yakuwa,’ wadde yali yeetooloddwa abasinza ba katonda ow’obulimba Moleki. Yee, Keezeekiya ‘teyalekayo kugoberera Yakuwa naye yakwatanga ebiragiro bye.’​—2 Bassekabaka 18:1-6.

Omutume Pawulo ye muntu omulala eyanywerera ku Yakuwa. Ebikwata ku buweereza bwe ebisangibwa mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani eby’Ekikristaayo biwa obujulizi ku ngeri Pawulo gye yenyigiranga mu buweereza bwa Katonda n’emmeeme ye yonna. Ku nkomerero y’obulamu bwe obw’oku nsi, Pawulo yali asobola okweyogerako bw’ati: “Nnwanye okulwana okulungi, olugendo ndutuusizza, okukkiriza nkukuumye.”​—2 Timoseewo 4:7.

Nga byakulabirako birungi nnyo eby’obunywevu Keezeekiya ne Pawulo bye baateekawo! Ka tukoppe okukkiriza kwabwe nga tunywerera ku Katonda waffe ow’Ekitalo, Yakuwa.​—Abaebbulaniya 13:7.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza