LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w00 4/1 lup. 32
  • Omukolo ogw’Enjawulo Onoobeerayo?

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Omukolo ogw’Enjawulo Onoobeerayo?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
w00 4/1 lup. 32

Omukolo ogw’Enjawulo Onoobeerayo?

KU LUNAKU olukulu olwaliwo emyaka egisukka mu 3,500 emabega, Yakuwa Katonda yalagira buli nnyumba y’Abaisiraeri abaali mu buddu mu Misiri okutta omwana gw’endiga oba embuzi era n’okuteeka omusaayi gwayo ku mifuubeeto ne ku kabuno k’ennyumba zaabwe. Ekiro ekyo kyennyini, malayika wa Katonda yayita ku nnyumba ezaali zirambiddwako mu ngeri eyo n’atta abaana ababereberye ab’obulenzi mu maka g’Abamisiri bonna. Oluvannyuma lw’ekyo Abaisiraeri ne bateebwa. Mu kujjukira olunaku olwo, Abayudaaya bakuza embaga ey’Okuyitako.

Amangu ddala nga Yesu Kristo amaze okukuza embaga ye ey’Okuyitako eyasembayo ng’ali n’abayigirizwa be, yatandikawo ekijjulo ekyandijjuukiriddwako okufa kwe okwa ssaddaaka. Yakwasa abayigirizwa be emigaati egitali mizimbulukuse n’abagamba: “Mutoole, mulye; guno gwe mubiri gwange.” Oluvannyuma yabawa ekikompe ky’enviinyo n’abagamba: “Munywe ku kino mwenna; kubanga kino gwe musaayi gwange ogw’endagaano, oguyiika ku lw’abangi olw’okuggyawo ebibi.” Yesu era yagamba: “Mukolenga bwe mutyo okunjijukiranga nze.” (Matayo 26:26-28; Lukka 22:19, 20) N’olwekyo Yesu yalagira abagoberezi be okukwatanga ekijjukizo kino eky’okufa kwe.

Omwaka guno ekijjukizo ky’okufa kwa Yesu kijja kubeerawo ku Lw’Okusatu, nga Apuli 19, oluvannyuma lw’enjuba okugwa. Abajulirwa ba Yakuwa okwetooloola ensi yonna bajja kukuŋŋaana ku kawungeezi ako ak’enjawulo okukwata Ekijjukizo kino nga Yesu bwe yagamba. Mwanirizibwa nnyo okutwegattako ng’abatunuulizi. Buuza Abajulirwa ba Yakuwa abali mu kitundu kyo bakutegeeze essaawa yennyini n’ekifo awanaakuŋŋaanirwa.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza