LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • th essomo 16 lup. 19
  • Ebizimba era Ebizzaamu Amaanyi

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Ebizimba era Ebizzaamu Amaanyi
  • Nyiikirira Okusoma n’Okuyigiriza
  • Laba Ebirala
  • Okufuba Okutuuka ku Mutima
    Nyiikirira Okusoma n’Okuyigiriza
  • Mu Ngeri Ezimba era Ezzaamu Amaanyi
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Okwogera n’Ebbugumu
    Nyiikirira Okusoma n’Okuyigiriza
  • Okulaga Omuganyulo
    Nyiikirira Okusoma n’Okuyigiriza
Laba Ebirara
Nyiikirira Okusoma n’Okuyigiriza
th essomo 16 lup. 19

ESSOMO 16

Ebizimba era Ebizzaamu Amaanyi

Ekyawandiikibwa

Yobu 16:5

MU BUFUNZE: Essira tolissa ku bizibu wabula lisse ku ngeri y’okubigonjoolamu, era ne ku bintu ebisobola okuzzaamu abakuwuliriza amaanyi.

ENGERI Y’OKUKIKOLAMU:

  • Beera n’endowooza ennuŋŋamu ku bakuwuliriza. Kitwale nti bakkiriza banno baagala okusanyusa Yakuwa. Ne bwe kiba nti olina okubawabula, sooka obasiime mu bwesimbu buli lw’oba ofunye akakisa.

    |Eky’okukola

    Okwagala kwe kusaanidde okukukubiriza mu buli kimu ky’oyogera. Ssaako akamwenyumwenyu kiyambe abakuwuliriza okulaba nti obafaako era nti oli mwesimbu.

  • Toyogera nnyo ku bintu ebimalamu amaanyi. Emboozi yo bw’ebaamu ekintu ekitali kirungi, kyogereko katono bw’olaba nga kyetaagisa. Okusingira ddala by’oyogera bisaanidde okuba nga bizzaamu amaanyi.

  • Kozesa bulungi Ekigambo kya Katonda. Yogera ku bintu Yakuwa bye yakola, by’akola kati, era ne by’ajja okukolera abantu. Abakuwuliriza bayambe okufuna essuubi era bazzeemu amaanyi.

MU BUWEEREZA

Kitwale nti buli muntu asobola okufuuka omuweereza wa Yakuwa.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza