AKASANDUUKO 6A
‘Mwa Omutwe Gwo N’ekirevu Kyo’
Mu Kyapa
Ezeekyeri yakola ebintu ebyandibadde bituukirira ku Yerusaalemi
‘Okumwa’
Abayudaaya bandirumbiddwa era ne basaanyizibwawo
‘Okuzipima n’Okuzigabanyaamu’
Omusango gwandituukiriziddwa mu bujjuvu
‘Okuzookya’
Abamu bandifiiridde mu kibuga
‘Okuzisalaasala’
Abamu banditiddwa wabweru w’ekibuga
‘Okuzisaasaanya’
Abamu bandidduse, naye tebandifunye mirembe
‘Okuzisiba mu kikondoolo’
Abamu ku baali mu buwaŋŋanguse bandikomyewo mu Yerusaalemi, era okusinza okulongoofu kwandikuumiddwa