EKITUNDU EKY’OKUNA
“Erinnya Lyange Ettukuvu Ndirirwanirira n’Obunyiikivu”—Okusinza Okulongoofu Kulumbibwa Naye Kusigalawo
OMULAMWA: Yakuwa akuuma abantu be n’abayisa mu kibonyoobonyo ekinene
Yakuwa ayagala nnyo abantu, naye era bavunaanyizibwa gy’ali olw’ebikolwa byabwe. Yakuwa atwala atya abo abagamba nti bamusinza naye ng’ebikolwa byabwe tebikiraga? Anaasalawo atya abo abanaawonawo mu kibonyoobonyo ekinene? Era lwaki Yakuwa, Katonda ow’okwagala, agenda kusaanyaawo obukadde n’obukadde bw’abantu ababi?