OLUYIMBA 36
Tukuuma Emitima Gyaffe
Mu Kyapa
1. Tukuuma ’mitima gyaffe;
’Kibi tukyesamba.
Katonda ’laba ebiri
Munda mu mutima.
Omutima gugezaako
Nnyo okutulimba.
Tufube okugukuuma
Guleme ’ttuwabya.
2. Tusemberera Katonda
Nga tumusabanga.
Tumwebaza buli lukya;
Tumutendereza.
Yakuwa by’atulagira
Tubigoberera.
’Mitima gyaffe ginywera,
Ne tumusanyusa.
3. Tuliisa ’mitima gyaffe
’Bintu ebisaana.
Ekigambo kya Katonda
Kye kituluŋŋamya.
Abantu be abeesigwa
Yakuwa ’baagala.
Kale tujja kumusinza
Emirembe gyonna.
(Laba ne Zab. 34:1; Baf. 4:8; 1 Peet. 3:4.)