Ennyanjula yʼEkitundu 13
Yesu yajja ku nsi okuwaayo obulamu bwe ku lw’abantu abatatuukiridde. Wadde nga Yesu yafa, yawangula ensi. Yakuwa teyeerabira Mwana we, era yamuzuukiza. Yesu yaweereza abalala era yabasonyiwanga nga bakoze ensobi. Oluvannyuma lw’okuzuukira, Yesu yalabikira abayigirizwa be. Yabayigiriza engeri y’okukolamu omulimu omukulu gwe yabakwasa. Bw’oba oli muzadde, yamba omwana wo okukimanya nti naffe tusaanidde okwenyigira mu mulimu ogwo.