LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • lfb lup. 94-95
  • Ennyanjula yʼEkitundu 7

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Ennyanjula yʼEkitundu 7
  • Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Laba Ebirala
  • Dawudi ne Sawulo
    Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Lwaki Dawudi Alina Okudduka
    Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
  • Ebirimu
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • Dawudi Afuulibwa Kabaka
    Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
Laba Ebirara
Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
lfb lup. 94-95
Dawudi alwanyisa eddubu n’ataasa endiga okuttibwa

Ennyanjula yʼEkitundu 7

Ekitundu kino kyogera ku bulamu bwa Kabaka Sawulo ne Kabaka Dawudi, era bye kyogerako byaliwo mu bbanga lya myaka nga 80. Mu kusooka Sawulo yali mwetoowaze era ng’atya Katonda, naye oluvannyuma yakyuka n’alekera awo okugondera Yakuwa. Yakuwa yasalawo okumuggyako obwakabaka era n’alagira Samwiri okufuka amafuta ku Dawudi okuba kabaka wa Isirayiri anaddako. Olw’obuggya bwe yalina, emirundi mingi Sawulo yagezaako okutta Dawudi, naye Dawudi teyawoolera ggwanga. Yonasaani mutabani wa Sawulo yali akimanyi nti Yakuwa yali alonze Dawudi, bwe kityo yawagira Dawudi. Dawudi yakola ebibi eby’amaanyi, naye yakkiriza okukangavvula Yakuwa kwe yamuwa. Bw’oba ng’oli muzadde, yamba omwana wo okulaba ensonga lwaki bulijjo kikulu okuwagira enteekateeka za Katonda.

EBY’OKUYIGA

  • Ekintu ekisingayo obukulu kye tusobola okuwa Yakuwa kwe kuba abawulize gy’ali

  • Towooleranga ggwanga, wabula lindiriranga Yakuwa okutereeza ensonga

  • Bwe tukola ekibi eky’amaanyi, tetusaanidde kukikweka

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza