LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • lfb essomo 30 lup. 76
  • Lakabu Yakweka Abakessi

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Lakabu Yakweka Abakessi
  • Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Laba Ebirala
  • Lakabu Yakkiririza mu Yakuwa
    Yigiriza Abaana Bo
  • Lakabu Akweka Abakessi
    Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
  • ‘Yayitibwa Mutuukirivu olw’Ebikolwa’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Yalondawo Okuba ku Ludda Lwa Yakuwa
    Yoleka Obuvumu ng’Oweereza Katonda
Laba Ebirara
Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
lfb essomo 30 lup. 76
Lakabu akuuma abakessi ng’alagirira abasirikale okukwata ekkubo eddala

ESSOMO 30

Lakabu Yakweka Abakessi

Abakessi Abayisirayiri bwe baatuuka mu kibuga Yeriko, baayingira mu nnyumba y’omukazi ayitibwa Lakabu. Ekyo kabaka wa Yeriko yakitegeerako era n’atuma abasirikale okugenda ewa Lakabu. Lakabu yakweka abakessi abo ababiri waggulu ku nnyumba ate abasirikale ba kabaka n’abagamba okukwata ekkubo eddala. Yagamba abakessi nti: ‘Nja kubayamba kubanga nkimanyi nti Yakuwa ali ku ludda lwammwe era mujja kuwamba ensi eno. Naye munsuubize nti mujja kuwonyaawo ab’omu nju yange.’

Abakessi baagamba Lakabu nti: ‘Tewali n’omu ku b’omu nnyumba yo ajja kutuusibwako kabi.’ Era baamugamba nti: ‘Singa osiba omuguwa omumyufu ku ddirisa ly’ennyumba yo, ab’omu nnyumba yo tebajja kutuusibwako kabi konna.’

Ennyumba ya Lakabu ng’eriko omuguwa omumyufu ogusibiddwa mu ddirisa, esigala ng’eyimiridde oluvannyuma lw’ebisenge bya Yeriko okugwa

Lakabu yayisa abakessi mu ddirisa n’abassiza ku muguwa. Abakessi abo baasooka kugenda mu nsozi ne beekweka eyo okumala ennaku ssatu nga tebannaddayo eri Yoswa. Oluvannyuma Abayisirayiri baasomoka Omugga Yoludaani ne beeteekateeka okuwamba ensi eyo. Yeriko kye kibuga kye baasooka okuwamba. Yakuwa yabalagira okwetooloola ekibuga ekyo omulundi gumu buli lunaku okumala ennaku mukaaga. Ku lunaku olw’omusanvu, beetooloola ekibuga Yeriko emirundi musanvu. Oluvannyuma bakabona baafuuwa amakondeere, era abasirikale ne baleekaana nnyo. Amangu ago bbugwe w’ekibuga yagwa! Naye ennyumba ya Lakabu, eyali ku bbugwe w’ekibuga, yo teyagwa. Lakabu n’ab’omu nnyumba ye baawonawo olw’okuba Lakabu yeesiga Yakuwa.

“Ne Lakabu . . . teyayitibwa mutuukirivu olw’ebikolwa, oluvannyuma lw’okusembeza ababaka era n’abayisa mu kkubo eddala?”​—Yakobo 2:25

Ebibuuzo: Lwaki Lakabu yayamba abakessi? Abayisirayiri baawamba batya Yeriko? Kiki ekyatuuka ku Lakabu n’ab’omu nnyumba ye?

Yoswa 2:1-24; 6:1-27; Abebbulaniya 11:30, 31; Yakobo 2:24-26

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza