ESSOMO 24
Tebaatuukiriza Ekyo Kye Beeyama
Yakuwa yagamba Musa nti: ‘Yambuka ku lusozi. Ŋŋenda kuwandiika amateeka gange ku bipande by’amayinja mbikuwe.’ Musa yayambuka ku lusozi n’amalayo ennaku 40. Bwe yali eyo, Yakuwa yawandiika Amateeka Ekkumi ku bipande bibiri eby’amayinja era ebipande ebyo n’abiwa Musa.
Nga wayise ekiseera, Abayisirayiri baatandika okulowooza nti Musa yali abaleseewo. Baagamba Alooni nti: ‘Twagala anaatukulembera. Tukolere katonda!’ Alooni yabagamba nti: ‘Mumpe zzaabu wammwe.’ Yasaanuusa zzaabu oyo n’amukolamu ekifaananyi ky’ennyana. Abantu baagamba nti: ‘Ennyana eno ye Katonda waffe eyatuggya e Misiri!’ Baatandika okusinza ennyana eyo eya zzaabu, era ne bakola embaga. Ekyo kye baakola kyali kikyamu? Yee, kubanga baali bamaze okusuubiza Yakuwa nti bajja kusinza ye yekka. Naye kati baali basinza katonda mulala.
Yakuwa yalaba ekyali kigenda mu maaso era n’agamba Musa nti: ‘Genda eri abantu. Banjeemedde era basinza katonda ow’obulimba.’ Musa yakka okuva ku lusozi ng’akutte ebipande by’amayinja ebibiri.
Musa bwe yali anaatera okutuuka abantu we baali, yawulira nga bayimba. Era bwe yagenda asembera, yabalaba nga bazina era nga bavunnamira ennyana. Ekyo kyanyiiza nnyo Musa. Musa yasuula wansi ebipande by’amayinja ebibiri ne bimenyekamenyeka. Amangu ago Musa yasaanyaawo ennyana eyo gye baali bakoze. Oluvannyuma yabuuza Alooni nti: ‘Abantu bano baatuuse batya okukuleetera okukola ekintu ekibi bwe kiti?’ Alooni yagamba Musa nti: ‘Tosunguwala. Abantu bano naawe obamanyi. Baabadde baagala katonda era nange nnakutte zzaabu waabwe ne musuula mu muliro ne muvaamu ennyana!’ Alooni teyandikoze kintu ng’ekyo. Musa yaddayo waggulu ku lusozi ne yeegayirira Yakuwa asonyiwe abantu.
Yakuwa yasonyiwa abo abaali abeetegefu okumugondera. Olaba ensonga lwaki kyali kikulu Abayisirayiri okukolera ku bulagirizi bwa Musa, omukulembeze Katonda gwe yali abawadde?
“Buli lw’obaako kye weeyamye eri Katonda, tolwangawo kukituukiriza; kubanga Katonda tasanyukira basirusiru. Kye weeyama okituukirizanga.”—Omubuulizi 5:4