Ebirimu
EKITUNDU 1 LWAKI OSAANIDDE OKUKOMAWO ERI YAKUWA?
Abantu ba Yakuwa ab’edda nabo baayolekagana n’ebizibu bye twolekagana nabyo leero. Yakuwa yabayamba, era naffe asuubizza okutuyamba. Ng’Omusumba afaayo era alina okwagala, Yakuwa anoonya endiga ze ezaabula era n’azikubiriza okukomawo gy’ali.
Ekitundu 1 “Ebuze Nja Kuginoonya”
EKITUNDU 2-4 BIKI EBIYINZA OKUKULEMESA OKUKOMAWO?
Abaweereza ba Katonda abeesigwa oluusi nabo beeraliikiriranga, baggwangamu amaanyi, era baanakuwalanga olw’ensobi zaabwe, era ng’ebintu ebyo byakosanga obuweereza bwabwe. Weetegereze engeri Yakuwa gye yabayambamu okuvvuunuka ebintu ebyo, okuddamu okubeera n’abantu be, n’okuddamu okufuna essanyu.
Ekitundu 2 Okweraliikirira—“Tunyigirizibwa mu Buli Ngeri”
Ekitundu 3 Ebitunyiiza—Bwe Tuba ‘n’Ensonga ku Munnaffe’
Ekitundu 4 Omutima Okukulumiriza—“Nnaazaako Ekibi Kyange”
EKITUNDU 5 ENGERI GY’OYINZA OKUKOMAWO ERI YAKUWA
Laba obukakafu obulaga nti Yakuwa ayagala okomewo gy’ali. Manya engeri Abakristaayo abamu gye baakomawo eri Yakuwa, engeri ab’oluganda mu kibiina gye baabanirizaamu, era n’engeri abakadde gye baabayamba okuddamu okuweereza Yakuwa n’obunyiikivu.