LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • jy sul. 28 lup. 70-lup. 71 kat. 6
  • Lwaki Abayigirizwa ba Yesu Tebasiiba?

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Lwaki Abayigirizwa ba Yesu Tebasiiba?
  • Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
  • Laba Ebirala
  • Bayibuli Eyogera Ki ku Kusiiba?
    Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
jy sul. 28 lup. 70-lup. 71 kat. 6
Abayigirizwa ba Yokaana nga babuuza Yesu ebikwata ku kusiiba

ESSUULA 28

Lwaki Abayigirizwa ba Yesu Tebasiiba?

MATAYO 9:14-17 MAKKO 2:18-22 LUKKA 5:33-39

  • ABAYIGIRIZWA BA YOKAANA BABUUZA YESU KU BIKWATA KU KUSIIBA

Yokaana Omubatiza abadde mu kkomera okuva mu kiseera Yesu we yakwatira embaga ey’Okuyitako ey’omwaka gwa 30 E.E. Yokaana yali ayagala abayigirizwa be bafuuke abagoberezi ba Yesu, naye okuva Yokaana lwe yasibibwa, abamu ku bo tebannafuuka bagoberezi ba Yesu.

Embaga ey’Okuyitako ey’omwaka gwa 31 E.E. enaatera okutuuka, era abamu ku bayigirizwa ba Yokaana bajja eri Yesu ne bamubuuza nti: “Lwaki ffe n’Abafalisaayo tusiiba ng’ate bo abayigirizwa bo tebasiiba?” (Matayo 9:14) Abafalisaayo okusiiba bakutwala ng’akalombolombo k’eddiini. Oluvannyuma, Yesu akozesa n’ekyokulabirako ky’Omufalisaayo omu eyeetwala nti mutuukirivu, asaba ng’agamba nti: “Ai Katonda, nkwebaza olw’okuba siri ng’abantu abalala . . . Nsiiba emirundi ebiri mu wiiki.” (Lukka 18:11, 12) Abayigirizwa ba Yokaana nabo bayinza okuba nga basiiba olw’okuba okusiiba bakutwala ng’akalombolombo, oba bayinza okuba nga basiiba okulaga nti banakuwavu olwa Yokaana okusibibwa mu kkomera. Abantu abalala nabo beebuuza ensonga lwaki abayigirizwa ba Yesu tebasiiba nabo balage nti banakuwavu olw’ekyo ekyatuuka ku Yokaana.

Yesu abaddamu ng’akozesa ekyokulabirako kino: “Mikwano gy’omugole omusajja bayinza okunakuwala ng’omugole oyo akyali nabo? Naye ekiseera kijja kutuuka omugole omusajja abaggibweko, era olwo bajja kusiiba.”​—Matayo 9:15.

Yokaana kennyini yayogera ku Yesu ng’omugole omusajja. (Yokaana 3:28, 29) N’olwekyo, olw’okuba Yesu akyaliwo, abayigirizwa ba Yesu tekibeetaagisa kusiiba. Oluvannyuma, Yesu bw’anaafa, abayigirizwa be bajja kunakuwala nnyo babe nga tebaagala na kulya. Naye bw’anaazuukira, bajja kusanyuka nnyo. Tewajja kubaawo kintu kyonna kibaleetera kuddamu kusiiba.

Oluvannyuma, Yesu abawa ebyokulabirako bino ebibiri: “Tewali atunga kiwero kipya ku kyambalo eky’okungulu ekikadde; kubanga ekiwero ekyo kyesika okuva ku kyambalo, ekituli ne kiba kinene n’okusingawo. Era abantu tebateeka mwenge musu mu nsawo z’amaliba enkadde; singa baguteekamu, ensawo zaabika omwenge ne guyiika era ensawo ne zoonooneka. Naye abantu bateeka omwenge omusu mu nsawo z’amaliba empya.” (Matayo 9:16, 17) Yesu ategeeza ki?

Yesu ayamba abayigirizwa ba Yokaana okukitegeera nti tewali asaanidde kulowooza nti abagoberezi ba Yesu bajja kukola ebintu ebitakyetaagisa ebikolebwa mu ddiini y’Ekiyudaaya, gamba ng’okusiiba. Teyajja kukuba biraka okusinza Yakuwa kwatakyasiima era okunaatera okuggibwawo. Engeri Yesu gy’ayagala abantu basinzeemu Yakuwa eyawukanira ddala ku kusinza kw’Abayudaaya abaliwo okujjudde obulombolombo bw’abantu. Yesu tagezaako kutunga kiwero kipya ku kyambalo ekikadde oba okuteeka omwenge omusu mu nsawo y’eddiba enkadde era eyakakanyala.

EBYOKULABIRAKO EBIKWATA KU KUSIIBA

Ensawo ey’eddiba

Yesu yakozesa ekyokulabirako eky’okutunga engoye, abantu bangi kye baali bamanyi obulungi. Kiki ekiyinza okubaawo singa omuntu atunga ekiwero ekipya ku kyambalo ekikadde? Ekyambalo ekyo bwe kyozebwa, ekiwero ekipya kyesika, olwo nno ekyambalo ne kiyulikira ddala.

Mu ngeri y’emu, omwenge oluusi gwaterekebwanga mu nsawo ezaakolebwanga mu maliba g’ensolo. Oluvannyuma lw’ekiseera, eddiba lyakakanyalanga ne liba nga terikyasobola kwereega. Kyabanga kya kabi okuteeka omwenge omusu mu nsawo ey’eddiba ekkadde. Omwenge omusu guyinza okweyongera okukula ne guleega ensawo y’eddiba ekkadde n’eyabika.

  • Mu kiseera kya Yesu baani abasiiba, era lwaki?

  • Lwaki abayigirizwa ba Yesu tebasiiba ng’akyali nabo, naye oluvannyuma kiki ekiyinza okubaleetera okusiiba?

  • Ekyokulabirako kya Yesu ekikwata ku kiwero ekipya n’ekyo ekikwata ku mwenge omusu bitegeeza ki?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza