LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • jy sul. 15 lup. 41
  • Akola Ekyamagero Ekisooka

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Akola Ekyamagero Ekisooka
  • Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
  • Laba Ebirala
  • Akola Ekyamagero eky’Okubiri e Kaana
    Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
  • “Ekiseera Kye Kyali nga Tekinnaba Kutuuka”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
  • Biki Bye Tuyigira ku Byamagero Yesu Bye Yakola?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2023
  • Yesu Akiraga nti Ayagala Nnyo Okusinza okw’Amazima
    Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
Laba Ebirara
Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
jy sul. 15 lup. 41
Yesu ng’ali ku mbaga e Kaana, ng’alagira abantu okujjuza amatogero amazzi

ESSUULA 15

Akola Ekyamagero Ekisooka

YOKAANA 2:1-12

  • EMBAGA EY’OBUGOLE E KAANA

  • YESU AFUULA AMAZZI OMWENGE

Luno lwe lunaku olw’okusatu bukya Nassanayiri afuuka omu ku bayigirizwa ba Yesu abaasooka. Yesu n’abamu ku bayigirizwa be abaasooka boolekera ebukiikakkono mu ssaza ly’e Ggaliraaya, mu kitundu ky’ewaabwe. Bagenda mu kabuga akayitibwa Kaana, Nassanayiri gy’azaalibwa. Akabuga Kaana kali mu busozi obuli mu bukiikakkono bwa Nazaaleesi, Yesu gye yakulira. Bayitiddwa ku kijjulo eky’embaga ey’obugole e Kaana.

Maliyamu maama wa Yesu naye azze ku mbaga. Olw’okuba Maliyamu mukwano gw’ab’omu maka g’abo abagenda okufumbiriganwa, kirabika abadde abayambako mu kuteekerateekera abagenyi. Akiraba nti wazzeewo obwetaavu, era amangu ddala agamba Yesu nti: “Tebalina mwenge.”​—Yokaana 2:3.

Maliyamu ategeeza nti Yesu abeeko ky’akolawo kubanga omwenge guweddewo. Yesu akiraga nti takkiriziganyizza naye ng’amugamba nti: “Ekyo nze naawe kiba kitukwatirako wa?” (Yokaana 2:4) Olw’okuba Katonda ye yamulonda okuba Kabaka, Yesu alina kukolera ku bulagirizi bwa Kitaawe ow’omu ggulu so si ebyo ab’eŋŋanda ze oba mikwano gye bye bamugamba okukola. Maliyamu aleka Yesu okusalawo eky’okukola, era agamba abo abaweereza nti: “Kyonna ky’abagamba okukola mukikole.”​—Yokaana 2:5.

Waliwo amatogero mukaaga agaakolebwa mu mayinja, era nga buli limu ligyamu lita ezisukka mu 40. Yesu agamba abo abaweereza nti: “Amatogero mugajjuze amazzi.” Oluvannyuma Yesu abagamba nti: “Museneeko mutwalire kalabaalaba w’embaga.”​—Yokaana 2:7, 8.

Omukulu w’abagabuzi ng’asiima omugole omusajja olw’okutegeka omwenge omulungi

Kalabaalaba w’embaga yeewuunya olw’okuba omwenge mulungi nnyo, naye tamanyi nti kibadde kyamagero. Ayita omugole omusajja n’amugamba nti: “Buli muntu asooka kugabula mwenge mulungi, era abantu bwe bamala okutamiira n’alyoka aleeta ogutali mulungi. Naye ggwe omwenge omulungi obadde okyaguterese okutuusa kati.”​—Yokaana 2:10.

Kino kye kyamagero Yesu ky’asoose okukola. Abayigirizwa be abapya bwe balaba ekyo, beeyongera okumukkiririzaamu. Oluvannyuma, Yesu, maama we, ne baganda be bagenda e Kaperunawumu ekiri ebukiikakkono w’ebugwanjuba bw’Ennyanja y’e Ggaliraaya.

  • Mu kiseera ky’obuweereza bwa Yesu, ddi embaga ey’e Kaana w’ebeererawo?

  • Maama we bw’amugamba ebikwata ku mwenge, Yesu amuddamu ki?

  • Kyamagero ki Yesu ky’akola, era abalala bakwatibwako batya?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza