LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • jy sul. 6 lup. 20-lup. 21 kat. 8
  • Omwana Eyasuubizibwa

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Omwana Eyasuubizibwa
  • Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
  • Laba Ebirala
  • “Yafumiitiriza mu Mutima Gwe”
    Koppa Okukkiriza Kwabwe
  • “Laba! Ndi Muzaana wa Yakuwa!”
    Koppa Okukkiriza Kwabwe
  • Maliyamu—Ali Lubuto Naye Si Mufumbo
    Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
  • Yesu Yayiga Okubeera Omuwulize
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
Laba Ebirara
Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
jy sul. 6 lup. 20-lup. 21 kat. 8
Simyoni ng’asitudde Yesu nga Yusufu, Maliyamu, ne nnabbi omukazi Ana bamutunuulidde

ESSUULA 6

Omwana Eyasuubizibwa

LUKKA 2:21-39

  • YESU AKOMOLEBWA, OLUVANNYUMA ATWALIBWA MU YEEKAALU

Yusufu ne Maliyamu basigala mu Besirekemu mu kifo ky’okuddayo e Nazaaleesi. Yesu bw’aweza ennaku munaana, akomolebwa, ng’Amateeka Katonda ge yawa Abayisirayiri bwe gagamba. (Eby’Abaleevi 12:2, 3) Era mpisa y’Abayisirayiri okutuuma omwana ow’obulenzi erinnya ku olwo. Omwana waabwe bamutuuma Yesu, nga malayika Gabulyeri bwe yabagamba.

Kati wayise omwezi nga gumu, era Yesu wa nnaku 40. Bazadde be kati bamutwala wa? Bamutwala ku yeekaalu e Yerusaalemi, ekifo ekitali wala nnyo okuva we babeera. Amateeka gagamba nti nga wayise ennaku 40 oluvannyuma olw’omwana ow’obulenzi okuzaalibwa, maama we aba alina okuwaayo ekiweebwayo eky’okutukuzibwa ku yeekaalu.​—Eby’Abaleevi 12:4-8.

Ekyo kyennyini Maliyamu ky’akola. Maliyamu awaayo obunyonyi obutono bubiri ng’ekiweebwayo kye. Ekyo kituyamba okutegeera embeera y’eby’enfuna Yusufu ne Maliyamu gye balimu. Okusinziira ku Mateeka, omukazi aba azadde alina okuwaayo endiga ento n’ekinyonyi. Naye bw’aba nga tasobola kuwaayo ndiga, asobola okuwaayo bukaamukuukulu bubiri oba amayiba abiri. Obunyonyi obwo Maliyamu bw’asobola okuwaayo, era ekyo ky’akola.

‘ENNAKU EZ’OKUBATUKUZA ZITUUKA’

Yusufu ne Maliyamu baleese Yesu ku yeekaalu nga bazze okuwaayo ekiweebwayo eky’okutukuzibwa

Abakazi Abayisirayiri bwe baazaalanga, okusinziira ku Mateeka tebaabanga balongoofu okumala ekiseera. Ekiseera ekyo bwe kyaggwangako, baalinanga okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa okuba ekiweebwayo eky’okutukuzibwa. Ekyo kyajjukizanga bonna nti omwana gwe baabanga bazadde naye yali asikidde ekibi. Yesu yali atuukiridde era nga mutukuvu. (Lukka 1:35) Wadde kyali kityo, ennaku “ez’okubatukuza bwe zaatuuka” ng’Amateeka bwe gaali galagira, Maliyamu ne Yusufu baatwala omwana waabwe ku yeekaalu.​—Lukka 2:22.

Ku yeekaalu, wabaawo omusajja omukadde atuukirira Yusufu me Maliyamu. Omusajja oyo ayitibwa Simyoni. Katonda amutegeezezza nti, nga tannafa, ajja kulaba ku Kristo oba Masiya, Yakuwa gwe yasuubiza. Omwoyo omutukuvu gukulembera Simyoni okugenda ku yeekaalu gy’asanga Yusufu ne Maliyamu nga bali n’omwana waabwe omuto. Simyoni akwata Yesu n’amusitula.

Ng’asitudde Yesu, Simyoni yeebaza Katonda ng’agamba nti: “Mukama Afuga Byonna, olese omuddu wo agende mirembe nga bwe wayogera, kubanga amaaso gange galabye oyo aleeta obulokozi gwe wateekawo mu maaso g’abantu bonna, ekitangaala ekiggyawo ekizikiza ekibisse amawanga era ekitiibwa ky’abantu bo Isirayiri.”​—Lukka 2:29-32.

Ebigambo ebyo byewuunyisa nnyo Yusufu ne Maliyamu. Simyoni abawa omukisa era n’agamba Maliyamu nti omwana we “alondeddwa okuviirako bangi okugwa n’okuyimuka mu Isirayiri” era nti yandifunye ennaku ey’amaanyi, eringa okufumita okw’ekitala eky’obwogi.​—Lukka 2:34.

Waliwo n’omuntu omulala aliwo. Erinnya lye ye Ana, nnabbi omukazi ow’emyaka 84. Mu butuufu, Ana tayosa kugenda ku yeekaalu. Ana agenda awali Yusufu, Maliyamu, n’omwana waabwe Yesu. Ana atandika okwebaza Katonda n’okubuulira abalala ebikwata ku Yesu.

Tewali kubuusabuusa nti ebyo byonna ebigenda mu maaso bireetera Yusufu ne Maliyamu essanyu lingi! Mu butuufu, ebintu ebyo byonna byeyongera okubakakasa nti omwana waabwe y’Oyo Katonda gwe yali yasuubiza.

  • Okusinziira ku mpisa y’Abayisirayiri, omwana ow’obulenzi yatuumibwanga ddi erinnya?

  • Omwana ow’obulenzi bwe yawezanga ennaku 40 kiki maama we kye yalinanga okukola, era ekyo Maliyamu ky’akola kiraga ki ku mbeera ye ey’eby’enfuna?

  • Ku yeekaalu, baani abakiraga nti Yesu mwana wa njawulo, era bakiraga batya?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza