LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • sn oluyimba 131
  • Yakuwa Alokola

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Yakuwa Alokola
  • Muyimbire Yakuwa
  • Laba Ebirala
  • Yakuwa Alokola
    Muyimbire Yakuwa n’Essanyu
  • Mpa Obuvumu
    Muyimbire Yakuwa n’Essanyu
  • Ekintu kya Katonda Ekiganzi
    Muyimbire Yakuwa n’Essanyu
  • Ekintu kya Katonda Ekiganzi
    Muyimbire Yakuwa—Ennyimba Empya
Laba Ebirara
Muyimbire Yakuwa
sn oluyimba 131

Oluyimba 131

Yakuwa Alokola

Mu Kyapa

(2 Samwiri 22:1-8)

1. Yakuwa ye ggwe Katonda omulamu;

’Mirimu gyo mingi ku nsi ne mu ggulu.

By’okoze ggwe teriiyo asobola bbikola.

Teri akwenkana.

(CHORUS)

Yakuwa alokola abeesigwa.

Tujja kukiraba nti ye wa maanyi nnyo.

N’obuvumu n’okukkiriza, Tumutende

Nnyo Yakuwa; Kuba ye mulokozi waffe.

2. Nneetooloddwa emiguwa egy’okufa,

Yakuwa mpa ’maanyi, nnyamba nneme kutya.

Ng’oyima eyo gy’oli, ompulira. Nnunula;

Ntaasa nze, Kitange.

(CHORUS)

Yakuwa alokola abeesigwa.

Tujja kukiraba nti ye wa maanyi nnyo.

N’obuvumu n’okukkiriza, Tumutende

Nnyo Yakuwa; Kuba ye mulokozi waffe.

3. Ng’oyima mu ggulu, ojja kuboggola,

’Balabe bo batye; Ffe nga tujaganya.

Obeera ekyo kyonna ky’oyagala; ’Balala,

Bajja kukiraba.

(CHORUS)

Yakuwa alokola abeesigwa.

Tujja kukiraba nti ye wa maanyi nnyo.

N’obuvumu n’okukkiriza, Tumutende

Nnyo Yakuwa; Kuba ye mulokozi waffe.

(Era laba Zab. 18:1, 2; 144:1, 2.)

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza