ESSOMO 53
Okukubiriza n’Okuzzamu Abakuwukiriza Amaanyi
KA BIBE bizibu ki bye boolekaganye nabyo, abaweereza ba Katonda bandibadde bazzibwamu amaanyi mu kibiina Ekikristaayo. Okusobola okutuukiriza kino, abakadde bateekwa okukakasa nti emboozi n’okubuulirira kwe bawa bizzaamu amaanyi. Abakadde balina okuba “ng’ekifo ky’okwekwekamu eri empewo, n’ekiddukiro eri kibuyaga; ng’emigga gy’amazzi mu kifo ekikalu, ng’ekisiikirize ky’olwazi olunene mu nsi ekooyesa.”—Is. 32:2.
Bw’oba oli mukadde, emboozi zo zizzaamu amaanyi era zibudaabuda? Zizzaamu amaanyi abo abafuba okuweereza Yakuwa n’obwesigwa? Zikubiriza ababuulizi okweyongera okukola Katonda by’ayagala wadde ng’abantu tebeefiirayo ku bubaka bwe bababuulira oba nga babaziyiza? Kiba kitya singa abamu ku bakuwuliriza bennyamivu, babonaabona olw’embeera enzibu ez’eby’enfuna, oba nga batawaanyizibwa obulwadde obw’amaanyi obutayinza kuwonyezebwa mu kiseera kino? Osobola okuzzaamu baganda bo amaanyi okuyitira mu ‘by’oyogera.’—Yob. 16:5.
Bw’oba owa emboozi, yamba baganda bo okufuna essuubi n’amaanyi okuva eri Yakuwa era n’okugoberera enteekateeka z’atukoledde.—Bar. 15:13; Bef. 6:10.
Bajjukize Ebintu Yakuwa by’Akoze. Engeri enkulu gy’oyinza okukozesa okuzzaamu abakuwuliriza amaanyi kwe kubalaga engeri Yakuwa gye yayambamu abantu be okuvvuunuka ebizibu mu biseera ebyayita.—Bar. 15:4.
Ng’Abaisiraeri tebannayingira mu Nsi Nsuubize omwali abalabe baabwe, Yakuwa yagamba Musa ‘okugumya’ Yoswa era ‘n’okumuzzaamu amaanyi.’ Ekyo Musa yakikola atya? Nga ne Yoswa awulira, Musa yajjukiza eggwanga lya Isiraeri ebintu Yakuwa bye yali abakoledde nga bava e Misiri. (Ma. 3:28; 7:18) Ate era Musa yabajjukiza engeri Yakuwa gye yabayambamu okuwangula Abaamoli. Oluvannyuma Musa yakubiriza Yoswa bw’ati: “Beera n’amaanyi, [era] guma omwoyo.” (Ma. 31:1-8) Bw’oba ng’oyagala okuzzaamu baganda bo amaanyi, obakubiriza okujjukira ebyo Yakuwa by’azze abakolera?
Oluusi abantu abamu batendewarirwa olw’ebizibu ne batuuka n’okubuusabuusa obanga kirisoboka okufuna emikisa gy’Obwakabaka. Abalinga abo bajjukize nti ebisuubizo bya Yakuwa byesigika.—Yos. 23:14.
Mu nsi ezimu, gavumenti ziweze omulimu gwaffe ogw’okubuulira amawulire amalungi. Mu mbeera ng’ezo, abakadde basobola okuzzaamu bakkiriza bannaabwe amaanyi nga bababuulira ku byokulabirako by’abatume ba Yesu Kristo. (Bik. 4:1–5:42) Ate era bw’oyogera ku ebyo Katonda bye yakola ebyawandiikibwa mu kitabo kya Eseza, kijja kuyamba ab’oluganda okuba abavumu.
Emirundi egimu abantu abamu bajja mu nkuŋŋaana z’ekibiina naye ne batakulaakulana. Bayinza okulowooza nti Katonda tasobola kubasonyiwa olw’engeri embi gye beeyisaamu emabega. Mu mbeera ng’eyo, oyinza okwogera ku ngeri Yakuwa gye yasonyiwamu Kabaka Manase. (2 Byom. 33:1-16) Oba oyinza okwogera ku bantu b’omu Kkolinso eky’edda abaakyusa enneeyisa yaabwe ne bafuuka Abakristaayo, era Katonda n’abayita abatuukirivu.—1 Kol. 6:9-11.
Waliwo abalowooza nti ebizibu bye boolekagana nabyo biraga nti tebakyasiimibwa Katonda? Oyinza okubajjukiza ebyatuuka ku Yobu n’emikisa gye yafuna olw’okusigala nga mwesigwa eri Yakuwa. (Yob. 1:1-22; 10:1; 42:12, 13; Zab. 34:19) Banne ba Yobu baamulumiriza nti yalina ekibi kye yali akoze. (Yob. 4:7, 8; 8:5, 6) Ku luuyi olulala, Pawulo ne Balunabba bwe baali bazzaamu abayigirizwa amaanyi era nga ‘babakubiriza okusigala mu kukkiriza,’ baabagamba nti: ‘Kibagwanidde okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda nga bayita mu kubonaabona.’ (Bik. 14:21, 22) Mu ngeri y’emu leero, osobola okuzzaamu amaanyi abo aboolekaganye n’ebizibu ng’obategeeza nti Abakristaayo bonna balina okugumiikiriza okubonaabona era nti ekyo kisiimibwa Katonda.—Nge. 27:11; Mat. 24:13; Bar. 5:3, 4; 2 Tim. 3:12.
Kubiriza abakuwuliriza okulowooza ku ebyo Yakuwa by’abakoledde. Bw’okola bw’otyo, buli omu ajja kukiraba nti Yakuwa alina by’amukoledde nga bwe yasuubiza mu Zabbuli 32:8, awagamba nti: ‘Nnaakuyigirizanga era nnaakulaganga ekkubo ly’onooyitangamu. Nnaakuteesezanga ebigambo ng’eriiso lyange liri ku ggwe.’ Bw’obajjukiza engeri Yakuwa gy’abawaddemu obulagirizi n’engeri gy’azze ng’abazzaamu amaanyi, kijja kubayamba okutegeera nti Yakuwa abafaako kinnoomu era nti ajja kubayamba okuvvuunuka ebizibu bye boolekagana nabyo mu kiseera kino.—Is. 41:10, 13; 1 Peet. 5:7.
Laga nti Osiima Ebyo Yakuwa by’Akola Kati. Bw’oba oyagala okuzzaamu baganda bo amaanyi, bategeeze ebyo Yakuwa by’akola kati. Bw’obyogerako mu ngeri eraga nti obisiima, nabo bajja kubisiima.
Yogera ku ngeri Yakuwa gy’atuyambamu okwaŋŋanga ebizibu bye twolekagana nabyo. Atulaga engeri gye tugwanidde okweyisaamu. (Is. 30:21) Atunnyonnyola ensonga lwaki waliwo obumenyi bw’amateeka, obutali bwenkanya, obwavu, obulwadde n’okufa, era atubuulira engeri gy’ajja okubimalirawo ddala. Atuwadde ab’oluganda abalina okwagala. Atuwadde enkizo ey’okumutuukirira mu kusaba. Atuwadde enkizo ey’okubeera Abajulirwa be. Atuyambye okuteegera nti Kristo yatuuzibwa ku nnamulondo mu ggulu era nti enteekateeka y’ebintu eno embi eneetera okukoma.—Kub. 12:1-12.
Ng’oggyeko ebyo, waliwo enkuŋŋaana ennene n’entono. Bw’ozogerako mu ngeri eraga nti ozisiima, kijja kuyamba abakuwuliriza obutalagajjalira kukuŋŋaana wamu ne baganda baabwe.—Beb. 10:23-25.
Alipoota eziraga nti Yakuwa atuwadde emikisa olw’okunyiikirira obuweereza obw’ennimiro, nazo zizzaamu amaanyi. Mu kyasa ekyasooka, Pawulo ne Balunabba bwe baali bagenda e Yerusaalemi, baaleetera ‘ab’oluganda essanyu’ bwe baabannyonnyola engeri ab’amawanga gye bakkirizzaamu amazima ne bakyuka. (Bik. 15:3) Naawe osobola okuleetera baganda bo essanyu ng’obategeeza ku bintu ebibaddewo ebizimba.
Abakuwuliriza bajja kwongera okuzzibwamu amaanyi singa obayamba okutegeera omugaso gw’ebyo bye bakola. Beebaze olw’okwenyigira mu buweereza obw’Ekikristaayo. Siima ne bannamukadde oba abalwadde abeeyongera okuweereza wadde nga bakola kitono olw’embeera yaabwe. Bajjukize nti Yakuwa teyeerabira kwagala kwe balaga olw’erinnya lye. (Beb. 6:10) Ate era bajjukize nti okukkiriza okugezeseddwa kwa muwendo nnyo. (1 Peet. 1:6, 7) Baganda baffe beetaaga okujjukizibwa ensonga ezo.
Yogera n’Essanyu ku Ssuubi ery’Omu Biseera eby’Omu Maaso. Ebisuubizo bya Baibuli bizzaamu nnyo amaanyi abo bonna abaagala Katonda. Oboolyawo abasinga obungi ku abo abakuwuliriza batera okuwulira ebisuubizo bino. Naye bw’oyogera ku bisuubizo ebyo mu ngeri eraga nti bya ddala, era n’olaga nti obisiima, abakuwuliriza bajja kuba bakakafu nti bijja kutuukirizibwa era ekyo kijja kubaleetera essanyu. Okussa mu nkola by’oyize mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda kiyinza okukuyamba okukola kino.
Yakuwa y’asinga okugumya n’okuzzaamu amaanyi abantu be. Oyinza okukolera awamu naye mu kuzzaamu abalala amaanyi. Bw’oba oyogera eri ekibiina, fuba okuzzaamu abalala amaanyi.