ESSOMO 35
Okuggumiza Ensonga ng’Oziddiŋŋana
OKUYIGIRIZA obulungi kuzingiramu okuddiŋŋana ensonga z’oyogerako. Ensonga enkulu bw’eyogerwako emirundi egiwera, abawuliriza bayambibwa okugijjukira. Singa ensonga oddamu okugyogerako ng’okozesa ebigambo ebirala, abawuliriza bayinza okwongera okugitegeera obulungi.
Singa abakuwuliriza tebajjukira by’oyogedde, tebajja kuyambibwa kunyweza kukkiriza kwabwe wadde okulongoosa embeera y’obulamu bwabwe. Kyokka, bw’obaako ensonga z’oggumizza, ezo basobola okuzijjukira.
Yakuwa, Omuyigiriza ow’Ekitalo, atuteerawo ekyokulabirako ku nsonga eno ey’okuddiŋŋana. Yawa eggwanga lya Isiraeri Amateeka Ekkumi. Ng’akozesa malayika ng’omwogezi we, yasobozesa eggwanga lya Isiraeri okuwulira amateeka ago ku Lusozi Sinaayi. Oluvannyuma yawa Musa amateeka ago mu buwandiike. (Kuv. 20:1-17; 31:18; Ma. 5:22) Nga tebannayingira mu Nsi Ensuubize, Yakuwa yalagira Musa okuddamu okutegeeza eggwanga lya Isiraeri amateeka ago, era omwoyo omutukuvu ne gusobozesa Musa okugawandiika nga bwe gali mu Ekyamateeka 5:6-21. Mu mateeka agaweebwa Isiraeri mwalimu eryali libalagira okwagala Yakuwa n’omutima gwabwe gwonna, n’emmeeme yaabwe yonna, era n’amaanyi gaabwe gonna. Na lino lyaddibwamu enfunda n’enfunda. (Ma. 6:5; 10:12; 11:13; 30:6) Lwaki? Kubanga nga Yesu bwe yagamba, kye kyali “ekiragiro ekikulu eky’olubereberye.” (Mat. 22:34-38) Okuyitira mu nnabbi Yeremiya, Yakuwa yajjukiza abantu ba Yuda emirundi egisukka mu 20 obukulu bw’okugondera ebiragiro byonna bye yabawa. (Yer. 7:23; 11:4; 12:17; 19:15) Era okuyitira mu Ezeekyeri, Katonda yayogera emirundi egisukka mu 60 nti amawanga ‘galimanya nti nze Yakuwa.’—Ezk. 6:10; 38:23.
Mu byawandiikibwa ebikwata ku buweereza bwa Yesu, namwo mulimu okuddiŋŋana ensonga. Ng’ekyokulabirako, waliwo ebitabo bina eby’Enjiri—nga buli kimu kyogera ku bintu ebikulu ebyaliwo ebyogerwako ne mu kitabo ekirala kimu eky’Enjiri oba n’okusingawo kyokka ng’ebirimu byawukanamu katono. Mu kuyigiriza kwe, Yesu alina ensonga ze yayogerangako emirundi egiwerako naye ng’azoogerako mu ngeri za njawulo. (Mak. 9:34-37; 10:35-45; Yok. 13:2-17) Era bwe yali ku Lusozi olwa Zeyituuni ng’ebulayo ennaku ntono attibwe, Yesu yaddiŋŋana okubuulirira kuno okukulu: “Mutunule; kubanga temumanyi lunaku bwe luli Mukama wammwe lw’ajjirako.”—Mat. 24:42; 25:13.
Mu Buweereza bw’Ennimiro. Bw’oba obuulira abantu, oba oyagala bajjukire by’oyogera. Bw’oddiŋŋana obulungi ensonga enkulu, kiyinza okukuyamba okutuuka ku kiruubirirwa ekyo.
Emirundi mingi, bw’oddiŋŋana ensonga mu kaseera ako kennyini we muba muggyogererako, kiyamba akuwuliriza obutagyerabira. N’olwekyo, oluvannyuma lw’okusoma ekyawandiikibwa, oyinza okukiggumiza ng’onokolayo ensonga enkulu ekirimu era n’obuuza omuntu nti, “Weetegerezza ekyawandiikibwa ekyo bwe kigambye?”
Ebigambo by’oyogera ng’ofundikira nabyo biyinza okukuyamba. Ng’ekyokulabirako, oyinza okugamba: “Ensonga enkulu mu ebyo bye twogeddeko y’eno . . . ” Gyogere mu bigambo ebitonotono. Oyinza okwogera bw’oti: “Ekigendererwa kya Katonda kwe kufuula ensi olusuku lwe. Ekigendererwa ekyo kijja kutuukirizibwa.” Oba oyinza okugamba: “Baibuli eraga bulungi nti tuli mu nnaku ez’enkomerero ez’embeera zino ez’ebintu. Bwe tuba ab’okuwonawo ku nkomerero, twetaaga okuyiga Katonda by’atwetaagisa.” Oba oyinza okwogera bw’oti: “Nga bwe tulabye, Baibuli ewa amagezi amalungi ku ngeri y’okwaŋŋangamu ebizibu by’omu maka.” Oluusi kiyinza okukwetaagisa okuddamu okusoma ekyawandiikibwa okusobola okuggumiza ensonga gy’oyagala omuntu ajjukire. Kya lwatu, okusobola okuggumiza obulungi ensonga enkulu, kyetaagisa okufumiitiriza obulungi.
Bw’oba ozzeeyo eri abantu abaagala okumanya ebisingawo, nga mw’otwalidde n’abayizi ba Baibuli, oyinza okubabuuza ebibuuzo eby’okwejjukanya okusobola okuddiŋŋana ensonga enkulu.
Omuntu bwe kimuzibuwalira okutegeera okubuulirira kwa Baibuli oba okukussa mu nkola, ensonga eyo oyinza okugyogerako emirundi egiwera. Gezaako okuginnyonnyola mu ngeri ez’enjawulo. Tekyetaagisa kutwala kiseera kiwanvu nnyo ng’oyogera ku nsonga eyo, naye by’oyogera byandibadde biyamba omuyizi okweyongera okulowooza ku nsonga gye mwogeddeko. Jjukira nti ne Yesu bw’atyo bwe yakola ng’ayamba abayigirizwa be okuvvuunuka ekizibu kye baalina eky’okwagala obukulu.—Mat. 18:1-6; 20:20-28; Luk. 22:24-27.
Bw’oba Owa Emboozi. Bw’oba owa emboozi ku pulatifoomu, ekigendererwa kyo tekibeera kwogera bwogezi eri abakuwuliriza. Oba oyagala bategeere by’oyogera, babijjukire era babeeko kye bakolawo. Okusobola okubayamba mu ekyo, ensonga enkulu ziddiŋŋane.
Kyokka, singa ensonga enkulu oziddiŋŋana ekiyitiridde, abakuwuliriza bayinza obutassaayo mwoyo. Londa n’obwegendereza ensonga ezeetaaga okuggumizibwa. Emirundi egisinga ezo ze ziba ensonga enkulu emboozi yo kwe yeesigamiziddwa, naye era oyinza n’okuggumiza ensonga endala ezijja okuba ez’omuganyulo ennyo eri abakuwuliriza.
Okusobola okuziddiŋŋana, kiyinza okukwetaagisa okusooka okumenya ensonga enkulu mu nnyanjula yo. Kino kikole mu bigambo ebitonotono ng’otegeeza abakuwuliriza by’ogenda okwogerako, ng’obuuza ebibuuzo, oba ng’okozesa ebyokulabirako ebimpimpi ebiraga ekizibu ekirina okugonjoolebwa. Oyinza okubategeeza ensonga enkulu z’ogenda okwogerako era n’ozibamenyera. Bw’omala, buli emu ginnyonnyole bulungi. Mu mboozi yo osobola okuggumiza ensonga enkulu ng’oddamu okugyogerako nga tonnaba kugenda ku ndala. Oba oyinza okugiggumiza ng’okozesa ekyokulabirako ekiyinza okubayamba okutegeera ensonga eyo enkulu. Oyinza okwongera okuggumiza ensonga enkulu mu kufundikira ng’oddamu okuzoogerako, ng’ozigeraageranya n’ebintu ebirala, ng’oddamu ebibuuzo bye wabuuzizza ku ntandikwa oba ng’olaga engeri ebizibu bye wayogeddeko mu ntandikwa gye binaagonjoolebwamu.
Okwongereza ku ebyo, omwogezi alina obumanyirivu yeetegereza abamuwuliriza. Singa abamu baba bazibuwaliddwa okutegeera ensonga ezimu, omwogezi asobola okukitegeera. Singa ensonga eba nkulu nnyo, asobola okuddamu okugyogerako. Kyokka, abawuliriza bayinza obutayambibwa singa agiddamu ng’akozesa ebigambo bye bimu. Okusobola okuyigiriza obulungi, kyetaagisa okukola ekisingawo ku ekyo. Alina okutuukana n’embeera. Kiyinza okumwetaagisa okubaako by’ayongera mu mboozi ye. Singa oyiga okutuukana n’ebyetaago by’abakuwuliriza mu ngeri eno, kijja kulaga nti oli muyigiriza mulungi.