LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • be essomo 31 lup. 190-lup. 193 kat. 2
  • Okussa Ekitiibwa mu Balala

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Okussa Ekitiibwa mu Balala
  • Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Laba Ebirala
  • Ebyokulabirako eby’Ebintu Ebimanyiddwa
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Okukozesa Obulungi Ebintu Ebirabwako
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Wa Abalala Ekitiibwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
  • Lwaki Tusaanidde Okugondera Abo Abatukulembera?
    Engeri gy’Oyinza Okusigala mu Kwagala kwa Katonda
Laba Ebirara
Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
be essomo 31 lup. 190-lup. 193 kat. 2

ESSOMO 31

Okussa Ekitiibwa mu Balala

Kiki ky’osaanidde okukola?

Faayo ku balala ng’obassaamu ekitiibwa.

Lwaki Kikulu?

Omukristaayo bw’assa ekitiibwa mu balala, basobola okuwuliriza by’ababuulira okuva mu Baibuli.

EBYAWANDIIKIBWA bitukubiriza, ‘okussa ekitiibwa mu bantu bonna,’ era ‘n’obutavumanga muntu yenna.’ (1 Peet. 2:17; Tito 3:2) Kya lwatu, buli muntu gwe tusanga ‘yatondebwa mu kifaananyi kya Katonda.’ (Yak. 3:9) Era Kristo yafiirira buli muntu. (Yok. 3:16) Ate era abantu bonna basaanidde okubuulirwa amawulire amalungi babeeko kye bakolawo okusobola okulokolebwa. (2 Peet. 3:9) Abantu abamu balina okussibwamu ekitiibwa eky’enjawulo olw’engeri zaabwe oba olw’ebifo eby’obuvunaanyizibwa bye balina.

Lwaki abantu abamu tebaagala kussa kitiibwa mu balala nga Baibuli bw’ekubiriza? Kiyinza okuba nga mu kitundu gye bava okussa ekitiibwa mu muntu kisinziira ku kifo ky’alina, langi ye, ekikula kye, embeera y’obulamu bwe, emyaka gye, oba ebintu by’alina. Ate era obukumpanya bw’abakungu ba gavumenti buviiriddeko abantu obutassa kitiibwa mu ba buyinza. Mu nsi ezimu kiva ku kuba nti abantu banyigirizibwa nnyo embeera z’obulamu, oboolyawo bakola essaawa nnyingi okusobola okufuna ebyetaago by’obulamu, ate nga beetooloddwa abantu abatassa kitiibwa mu balala. Abavubuka bapikirizibwa bannaabwe okujeemera abasomesa n’ab’obuyinza abalala be bataagala. Bangi batwalirizibwa ebyo bye balaba ku ttivi gamba ng’abaana abeetwala okuba ab’amagezi okusinga bazadde baabwe ne batuuka n’okubalinnya ku mitwe. Okusobola okwewala endowooza y’ensi ey’obutassa kitiibwa mu balala kyetaagisa okufuba kwa maanyi. Kyokka, bwe tussa ekitiibwa mu balala, kitusobozesa okukubaganya nabo ebirowoozo.

Okussa Ekitiibwa mu Balala nga Twogera. Omuntu akola emirimu gy’eddiini aba asuubirwa okwambala n’okweyisa mu ngeri eweesa ekitiibwa. Buli kitundu kirina empisa za njawulo. Eri abamu okwogera n’omuntu ng’oyambadde enkufiira oba ng’okutte mu nsawo, kiba kiraga nti tomussizzaamu kitiibwa. Kyokka, mu bitundu ebirala ekyo tekitwalibwa bubi. Goberera empisa z’omu kitundu oleme kwesittaza balala. Bw’okola bw’otyo, kijja kukuyamba okubuulira obulungi amawulire amalungi.

Okussa ekitiibwa mu balala kikwata ne ku ngeri gye twogeramu nabo, naddala abo abakuze mu myaka. Kitera okutwalibwa ng’ekikolwa eky’obunyoomi singa abavubuka bayita abantu abakulu amannya gaabwe nga tebaweereddwa lukusa. Mu nsi ezimu, n’abantu abakulu tebasuubirwa kukozesa mannya g’abantu be batamanyi nga boogera nabo. Era mu nnimi ezimu bakozesa ekigambo “ssebo” oba ebigambo ebirala ebiraga okussa ekitiibwa mu bantu abakulu oba ab’obuyinza.

Obuteewulirira ku Bantu. Mu bitundu omuli abantu abatono, obeera osuubirwa okufaayo ku muntu gw’osisinkanye mu kkubo oba awantu awalala wonna. Kino osobola okukikola ng’omubuuza, oba ng’omuteerako akamwenyumwenyu, oba ng’owunziika ku mutwe. Okwewulirira ku muntu kitwalibwa ng’ekikolwa ekiraga nti tomussizzaamu kitiibwa.

Kyokka, ne bw’oba nga tobeewuliriddeko, abamu bayinza okukitwala nti tobawadde kitiibwa. Lwaki? Olw’okuba bayinza okulowooza nti tobawadde kitiibwa kyennyini ekibagwanira. Kya bulijjo okuteeka abantu mu biti eby’enjawulo okusinziira ku ndabika yaabwe. Abantu abalina obulemu n’abalwadde batera okuboolebwa. Kyokka, Ekigambo kya Katonda kitulaga engeri y’okuwaamu abantu ng’abo ekitiibwa era n’okubalaga okwagala. (Mat. 8:2, 3) Ffenna tulina engeri gye tukwatibwako ekibi kye twasikira okuva ku Adamu. Wandiwulidde ng’ossiddwamu ekitiibwa singa abantu buli lwe bakwogerako banokolayo ekikyamu ekiri ku mubiri gwo? Tewandyagadde bantu bakumanye olw’engeri zo ennungi?

Okussa ekitiibwa mu balala era kizingiramu okugondera obukulembeze bwabwe. Mu bifo ebimu, kiba kirungi okusooka okwogera n’omutwe gw’amaka nga tonnabuulira balala ababeera mu maka ago. Wadde nga Yakuwa ye yatukwasa omulimu ogw’okubuulira n’okuyigiriza, abazadde be yawa obuvunaanyizibwa obw’okutendeka abaana baabwe, okubagunjula, n’okubawa obulagirizi. (Bef. 6:1-4) N’olwekyo, bwe tugenda mu maka g’abantu, kiba kirungi okusooka okwogera n’abazadde nga tetunnaba kwogera n’abaana.

Omuntu omukulu mu myaka agwana okussibwamu ekitiibwa. (Yobu 32:6, 7) Okumanya ekyo kyayamba nnyo mwannyinaffe omuto akola nga payoniya mu Sri Lanka bwe yakyalira omusajja omukadde. Mu kusooka, omusajja oyo yali agaanye okumuwuliriza ng’agamba nti: “Omwana omuto nga ggwe oyinza otya okunjigiriza Baibuli?” Mwannyinaffe yamuddamu nti: “Mu butuufu sizze kukuyigiriza, wabula nnina ekintu kye nnayize ekyansanyusizza ennyo kye njagala okubuulirako abalala.” Olw’okuba payoniya oyo yamuddamu mu ngeri emuweesa ekitiibwa, omusajja oyo yakkiriza okuwuliriza. Omusajja yamugamba: “Kale mbuulira, wayize ki?” Mwannyinaffe yamuddamu nti: “Nnayize engeri gye nnyinza okubeerawo emirembe gyonna.” Omusajja ono omukadde yalwaddaaki n’atandika okuyiga Baibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa. Tekiri nti buli muntu omukulu mu myaka ayagala okussibwamu ekitiibwa mu ngeri ng’eyo, naye bangi bajja kusiima singa kibaweebwa.

Naye ate, kisoboka okuwa omuntu ekitiibwa ekiyitiridde. Mu bizinga bya Pacific ne mu bifo ebirala, Abajulirwa bwe bakozesa ebigambo ebissa ekitiibwa mu balala nga boogera n’abaami b’ekyalo oba abakulu b’ebika, kibayamba okwogera n’abakulu abo awamu n’abo be bafuga. Kyokka, tekyandibadde kirungi kuwaaniriza muntu. (Nge. 29:5) Ate era, wadde ng’olulimi luyinza okuba n’ebigambo ebiwerako ebikozesebwa okussa ekitiibwa mu muntu, Omukristaayo teyandibikozesezza mu ngeri esukkiridde.

Okussa Ekitiibwa mu Balala ng’Oyogera. Baibuli etukubiriza okunnyonnyola essuubi lyaffe mu ngeri ‘ey’obuwombeefu era ey’ekitiibwa.’ (1 Peet. 3:15, NW) N’olwekyo, wadde nga tusobola okulaga omuntu nti endowooza ye nkyamu, kyandibadde kya magezi okukikola mu ngeri emutyoboola? Tekyandibadde kirungi okumuwuliriza, oboolyawo ne tumubuuza ensonga lwaki alowooza bw’atyo, era ne tufaayo ku nneewulira ye nga tukubaganya naye ebirowoozo ku Byawandiikibwa?

Ekitiibwa ky’ossa mu muntu ng’oyogera naye era kye wandisizza ne mu bakuwuliriza ng’owa emboozi ku pulatifoomu. Omwogezi assa ekitiibwa mu bamuwuliriza tajja kubavumirira oba okwoleka endowooza egamba nti: “Ekintu kino mwandikikoze singa ddala mubadde mwagala.” Okwogera bw’otyo kibamalamu bumazi maanyi. Nga kyandibadde kirungi singa abakuwuliriza obatwala nti baagala Yakuwa era nti baagala okumuweereza! Okufaananako Yesu, tulina okuba abeegendereza bwe tuba nga tuyamba abantu abanafuye mu by’omwoyo, oba abato mu by’omwoyo, oba abo ababa baluddewo okussa mu nkola okubuulirira kwa Baibuli.

Abawuliriza bajja kukiraba nti omwogezi abassizzaamu ekitiibwa singa akiraga nti naye kennyini yeetaaga okuteeka mu nkola okubuulirira kw’Ekigambo kya Katonda. N’olwekyo, kiba kya magezi omwogezi okwewala okukozesa ennyo ekigambo “mmwe” ng’abalaga engeri y’okweyambisaamu ebyawandiikibwa. Ng’ekyokulabirako, weetegereze enjawulo eriwo wakati w’ebibuuzo bino, “Okola kyonna ky’osobola?” ne “Buli omu ku ffe asaanidde okwebuuza: ‘Nkola kyonna kye nsobola?’” Ebibuuzo ebyo bitegeeza ekintu kimu, naye mu kisooka omwogezi teyeezingiddemu. Eky’okubiri kikubiriza buli omu, nga mw’otwalidde n’omwogezi okwekebera.

Weewale okukozesa ebigambo ebigenderera okusesa obusesa abakuwuliriza. Okukozesa ebigambo ng’ebyo kiweebuula obubaka bwa Baibuli. Kyo kituufu nti tusaanidde okusanyuka nga tuweereza Katonda. Emboozi yaffe eyinza okubaamu ebintu ebisesa. Kyokka, ensonga enkulu bw’ozifuula ezisesa, kiba kiraga nti tossiza kitiibwa mu bakuwuliriza era ne mu Katonda.

Ka engeri gye tutuukiriramu abalala, enneeyisa yaffe, n’enjogera yaffe birage nti tuwa abalala ekitiibwa nga Yakuwa bw’atuyigiriza okukola.

ENGERI Y’OKUKIKOLAMU

  • Manya engeri Yakuwa gy’atunuuliramu abantu.

  • Ssa ekitiibwa mu bukulembeze bw’abalala, mu bantu abakulu mu myaka, ne mu b’obuyinza.

  • Leka abantu bakuwe endowooza yaabwe.

  • Manya ebikwata ku bakuwuliriza.

EKY’OKUKOLA: Lowooza ku muntu akusinga obukulu oba gw’osinga obukulu. Lowooza ku ngeri gy’oyinza okumutuukiriramu, ebigambo by’oyinza okwogera okusobola okutandika okunyumya naye, n’engeri gy’oyinza okulagamu nti omussaamu ekitiibwa awamu n’ebyo by’ayogera. Ssa mu nkola ebyo by’oteeseteese.

Engeri gye nnyinza okussa ekitiibwa mu balala

․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․

․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․

․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․

․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․

․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․

․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․

․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․

․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․

․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza