ESSOMO 26
Okusengeka Obulungi Ensonga Zo
NGA tonnatandika kutegeka mboozi, olina okuba n’ekiruubirirwa mu birowoozo byo. Olina ky’oyagala okutegeeza abalala ku nzikiriza emu, endowooza emu, oba enneeyisa? Waliwo ekituufu oba ekikyamu ky’oyagala okulaga? Oyagala okuyamba abakuwuliriza babeeko ensonga gye bategeera oba babeeko kye bakolawo? K’obe ng’ogenda kwogera na muntu omu oba eri ekibiina ky’abantu, okusobola okukikola obulungi, olina okulowooza ku bye bamanyi ku nsonga eyo gy’ogenda okwogerako era n’endowooza gye bagirinako. Bw’omala okukola ekyo, tegeka emboozi yo mu ngeri eneekusobozesa okutuukiriza ekiruubirirwa kyo.
Nga lwogera ku buweereza bwa Sawulo (Pawulo) mu Ddamasiko, Ebikolwa 9:22 lugamba nti, ‘yawuniikiriza Abayudaaya abaali batuula e Ddamasiko, ng’akakasiza ddala nti oyo ye Kristo.’ Yabawa bukakafu ki? Okusinziira ku ekyo ebyawandiikibwa kye byogera ku buweereza bwa Pawulo ng’ali mu Antiyokiya ne Ssessaloniika, yasooka kukiraga nti Abayudaaya baali bakkiriza Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya era nga bakkiriza ne kye byali byogera ku Masiya. Oluvannyuma, Pawulo yanokolayo mu Byawandiikibwa ebitundu ebyali bikwata ku bulamu bwa Masiya n’obuweereza bwe. Yabijuliza era n’abikwataganya n’ebyo ebyatuuka ku Yesu. Awo n’alyoka afundikira ng’alaga nti Yesu ye Kristo oba Masiya. (Bik. 13:16-41; 17:2, 3) Singa naawe osengeka bulungi ensonga zo ng’onnyonnyola amazima ga Baibuli, kijja kukuyamba okumatiza abalala.
Okusengeka by’Ogenda Okwogera. Osobola okusengeka by’ogenda okwogera mu ngeri nnyingi ennungi. Bw’olaba nga kisaanira, oyinza okukozesa engeri ezisukka mu emu. Weetegereze engeri ezimu z’oyinza okukozesa.
Ng’ensonga oziteeka wansi w’emitwe emitonotono egy’enjawulo. Kino kitegeeza okwawulamu by’ogenda okwogera ebitundu ebiwerako, nga buli kimu kirina engeri gye kinaakuyambamu okutuukiriza ekiruubirirwa kyo. Ebitundu ebyo bisobola okuba ensonga enkulu eziyamba abawuliriza okutegeera obulungi ky’oyogerako. Biyinza okubeera ensonga eziraga obutuufu oba obukyamu bw’ekintu. Wadde ng’ensonga ezimu ziyinza okuba nga zikwata ku ky’oyogerako, oyinza okuziggyamu oba okuzikozesa okusinziira ku byetaago by’abakuwuliriza oba ku kiruubirirwa kyo.
Weetegereze ekyokulabirako kino ekiraga engeri y’okuteeka ensonga wansi w’emitwe emitonotono egy’enjawulo. Emboozi ennyimpi ekwata ku linnya lya Katonda eyinza okuzingiramu bino: (1) ensonga lwaki kikulu okumanya erinnya lya Katonda, (2) erinnya lya Katonda kye litegeeza, ne (3) engeri gye tuyinza okuwa ekitiibwa erinnya eryo.
Waliwo bingi bye tusobola okuyiga ebikwata ku nkola eyo bwe twekenneenya ebitabo ‘by’omuddu omwesigwa era ow’amagezi’ bye tukozesa nga tuyigiriza abantu Baibuli. (Mat. 24:45) Ebitabo ebyo bitera okubaamu emitwe mingi egiyinza okuyamba omuyizi okutegeera enjigiriza enkulu eza Baibuli. Ebitabo ebinene bibaamu emitwe emitono okusobola okugabanyaamu buli ssuula. Buli mutwe gusobozesa omuyizi okutegeera ebiddirira era n’okufuna ekifaananyi eky’awamu ku nsonga eba eyogerwako.
Ekibaawo n’ekikiviirako okubaawo. Engeri endala gy’osobola okusengekamu obulungi by’onooyogera kwe kulaga ekintu ekibaawo n’ekikiviirako okubaawo.
Bw’oba ng’oyogera n’omuntu oba eri ekibiina ky’abantu abeetaaga okutegeera ebiyinza okuva mu kintu kye bakola oba kye bateekateeka okukola, enkola eno eyinza okuba ennungi. Engero essuula 7 etuwa ekyokulabirako ekirungi ku nsonga eno. Eyogera ku ngeri omuvubuka “atalina magezi” (ekikiviirako okubaawo) eyagenda eri omukazi omwenzi era n’abonaabona olw’ebintu ebibi ebyamuviiramu (ekibaawo).—Nge. 7:7.
Okwongera okuggumiza obulungi ensonga gy’oyogerako, oyinza okulaga ebintu ebibi ebituuka ku abo abatatambulira mu makubo ga Yakuwa n’ebirungi ebifunibwa abo abagondera Yakuwa. Ng’aliko omwoyo gwa Yakuwa, Musa yalaga Abaisiraeri ebyandivudde mu buwulize n’ebyandivudde mu bujeemu nga tebannayingira mu Ensi Nsuubize.—Ma. essuula, 28.
Oluusi kiba kirungi okutandika emboozi yo ng’oyogera ku mbeera emu eriwo ate oluvannyuma n’olyoka olaga ekiviirako embeera eyo okubaawo. Emirundi mingi kino kikwetaagisa okweyambisa enkola ey’okusooka okwogera ku kizibu ate oluvannyuma n’olaga engeri y’okukigonjoolamu.
Ekizibu n’engeri y’okukigonjoolamu. Bw’obeera mu buweereza bw’ennimiro n’oyogera ku kizibu ekikwata ku bantu era n’olaga nti waliwo engeri gye kiyinza okugonjoolebwamu obulungi, kiyinza okusikiriza omuntu okukuwuliriza. Oyinza okuba nga ggwe oyanjudde ekizibu ekyo oba gw’oyogera naye y’akyanjudde.
Ekizibu ekyo kiyinza okuba nga kikwata ku okukaddiwa n’okufa oba ku bumenyi bw’amateeka n’obutali bwenkanya ebicaase. Kiba tekikwetaagisa kunnyonnyola bingi okulaga nti ebizibu ng’ebyo weebiri, kubanga buli omu abimanyi. Tandika ng’oyogera ku kizibu ekiriwo ate oluvannyuma olage okuva mu Baibuli engeri gye kiyinza okugonjoolebwamu.
Ku ludda olulala, ekizibu ekyo kiyinza okuba nga kikwata ku muntu kinnoomu, gamba ng’ebizibu omuzadde ali obwannamunigina by’ayolekagana nabyo, okuggwaamu amaanyi olw’obulwadde, oba okuyisibwa obubi omuntu omulala. Okusobola okuyamba omuntu ng’oyo, oteekwa okuwuliriza obulungi by’ayogera. Baibuli esobola okutuyamba okwaŋŋanga ebizibu ebyo byonna. Naye tulina okugikozesa obulungi. By’oyogera bwe biba nga bya kuganyula omuntu oyo gw’oyogera naye, kikwetaagisa okumulaga ekituufu. Kirage bulungi obanga ekizibu ky’oyogerako kigenda kugonjoolebwa ddala oba ng’oyogera ku kufuna buweerero obw’akaseera, oba ku ngeri y’okugumiramu embeera etagenda kuvaawo mu nteekateeka eno ey’ebintu. Mu ngeri endala, kakasa nti Ebyawandiikibwa by’okozesa okunnyonnyola byebyo byennyini ebiwagira ensonga gy’oyogerako. Bwe kitaba kityo, omuntu ayinza obutategeera bulungi engeri ekizibu ky’oyogerako gye kinaagonjoolwamu.
Okubisengeka nga bwe bigenda biddiriŋŋana mu biseera. Ebintu ebimu byetaagisa okwogerwako nga bwe bigenda biddiriŋŋana mu biseera. Ng’ekyokulabirako, mu kitabo ky’Okuva, Ebibonyoobonyo Ekkumi byayogerwako nga bwe byajja biddiriŋŋana. Mu Abebbulaniya 11, omutume Pawulo yasengeka olukalala lw’abasajja n’abakazi abaateekawo ekyokulabirako ekirungi mu kukkiriza nga bwe bajja baddiriŋŋana mu biseera.
Singa ebintu ebyaliwo edda obyogerako nga bwe byagenda biddiriŋŋana mu biseera, kiyinza okuyamba abakuwuliriza okutegeera obulungi engeri embeera ezimu z’oyogerako bwe zajjawo. Kino kikwata ku byafaayo eby’omu biseera ebyakayita ne ku ebyo ebyaliwo mu biseera Baibuli we yawandiikibwa. Wano oyinza okweyambisa engeri bbiri ez’okusengekamu by’oyogera, kwe kugamba, ng’obisengeka nga bwe byagenda biddiriŋŋana mu biseera ng’ate eno bw’olaga ekyaliwo n’ekyakiviirako okubaawo. Bw’oba ogenda kwogera ku bintu Baibuli by’eraga nti bijja kubeerawo mu biseera eby’omu maaso, abakuwuliriza bajja kugoberera bulungi era babijjukire singa onoobyogera nga bwe bijja okuddiriŋŋana.
Okukozesa engeri eno ey’okwogera ku bintu nga bwe bigenda biddiriŋŋana tekitegeeza nti buli kiseera olina kutandikira ku kintu ekyasooka. Ebiseera ebimu, kiyinza okuba ekirungi singa osooka n’oyogera ku kintu ekikulu ekyaliwo mu ebyo by’ogenda okwogerako. Ng’ekyokulabirako, bw’oba ogenda okwogera ebikwata ku bulamu bw’omuntu, oyinza okusooka okwogera ku kigezo eky’amaanyi omuntu oyo kye yayolekagana nakyo. Bw’omala okubategeeza ebyo, bayinza okwagala okumanya ebyaddirira. Kyokka nga tonnabibategeeza, oyinza okubategeeza ebintu nga bwe byajja biddiriŋŋana mu biseera okutuukira ddala ku kiseera omuntu oyo we yayolekagana n’ekigezo.
Okukozesa Ebyo Byokka Ebyetaagisa. By’ogenda okwogera k’obeere ng’obisengese mu ngeri ki, kakasa nti okozesa ebyo byokka ebyetaagisa. Omutwe gw’emboozi yo gulina okukwatagana ne by’olonze okukozesa. Era olina okulowooza ne ku bantu abagenda okuwuliriza emboozi yo. Wayinza okubaawo ensonga eyeetaagisa ennyo okutegeeza abakuwuliriza abamu naye nga teyeetaagisa eri abalala. Era olina okukakasa nti by’ogenda okwogerako byonna bijja kukusobozesa okutuukiriza ekiruubirirwa kyo. Bwe kitaba kityo, emboozi yo eyinza obutatuukiriza kigendererwa kyayo.
Bw’oba okola okunoonyereza, oyinza okuzuula ebintu bingi ebikwatagana n’ensonga gy’ogenda okwogerako. Onookozesaako byenkana wa? Singa abakuwuliriza obategeeza ebintu ebisukkiridde obungi, oyinza obutatuukiriza kiruubirirwa kyo. Ensonga entonotono ezinnyonnyoddwa obulungi zijja kujjukirwa mangu okusinga ensonga ennyingi ezoogeddwako mu bwangu. Kino tekitegeeza nti tosaanidde kwongeramu kintu kyonna okugaziya ku nsonga gy’oba oyogerako. Naye tobiganya kukulemesa kutuukiriza kiruubirirwa kyo. Weetegereze engeri ekyo gye kyakolebwamu mu Makko 7:3;4 ne mu Yokaana 4:1-3, 7-9.
Bw’oba ova ku nsonga emu okudda ku ndala, tokikola mbagirawo kubanga abakuwuliriza bayinza okulemererwa okutegeera engeri ensonga ezo gye zikwataganamu. Ensonga okusobola okukwatagana obulungi, kiyinza okukwetaagisa okuziyunga obulungi. Ekiziyunga kiyinza okubeera ekigambo oba ebigambo ebiwerako ebiraga engeri ensonga ezo gye zikwataganamu. Mu nnimi nnyingi, waliwo obugambo obuyunga obuyinza okukozesebwa okulaga engeri ensonga eddako gy’ekwataganamu n’eyo eba evuddeko.
Bw’okozesa ebyo byokka bye weetaaga mu mboozi era n’obisengeka bulungi, ojja kusobola okutuukiriza ekiruubirirwa kyo.