LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • be essomo 16 lup. 135-lup. 138 kat. 4
  • Okwogera nga Totya

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Okwogera nga Totya
  • Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Laba Ebirala
  • Ennyanjula Esikiriza
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Okwogera n’Ebbugumu
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Okutunuulira Abakuwuliriza
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Ebiganyula Abakuwuliriza
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
Laba Ebirara
Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
be essomo 16 lup. 135-lup. 138 kat. 4

ESSOMO 16

Okwogera nga Totya

Kiki ky’osaanidde okukola?

Yimirira bulungi era oyogere ng’oli mukkakkamu.

Lwaki Kikulu?

Bw’oyogera nga totya ebirowoozo by’abakuwuliriza bijja kubeera ku by’oyogera so si ku ggwe.

KYA bulijjo omuntu okutya ng’agenda okuwa emboozi, naddala bw’aba nga tatera kuziwa. Omubuulizi ayinza okubaamu okutya bw’aba yakatandika okubuulira. Yeremiya bwe yalondebwa okuweereza nga nnabbi, yagamba bw’ati: “Woowe, Mukama Katonda! laba, siyinza kwogera: kubanga ndi mwana muto.” (Yer. 1:​5, 6) Wadde nga Yeremiya yasooka kutya, Yakuwa yamuyamba, era naawe ajja kukuyamba. Mpolampola ojja kuggwaamu okutya.

Omwogezi atatidde abeera mukkakkamu. Ayimirira bulungi. Akozesa bulungi emikono gye. Eddoboozi lye liba lya kigero era nga liwulikika bulungi.

Ne bw’oba tosobola kuba ng’omwogezi oyo, osobola okulongoosaamu. Mu ngeri ki? Ka twetegereze ekireetera omwogezi okutya.

Bw’oba ogenda okuwa emboozi naye nga teweekakasa obanga onoogiwa bulungi, oyinza okutandika okweraliikirira. N’ekiddirira omutima gutandika okukuba ennyo, otandika okuweekeera, okutuuyana, okukankana emikono n’eddoboozi, ssaako n’okukubagana amaviivi. Omubiri gwo guba gugezaako okukuyamba okwolekagana n’embeera eriwo. Obuzibu bw’oba nabwo kwe kumanya engeri gy’oyinza okugyaŋŋangamu osobole okuwa emboozi yo obulungi.

Engeri y’Okukendeeza Ekizibu ky’Okweraliikirira. Jjukira nti kya mu butonde omuntu okutya. Kyokka, okusobola okusigala ng’oli mukkakkamu oba olina okukulwanyisa kuleme kukulemesa kwogera. Kino osobola kukikolako otya?

Tegeka Bulungi. Waayo ebiseera ebimala okutegeka emboozi yo. Kakasa nti otegeera bulungi ky’ogenda okwogerako. Bwe kiba nti ggwe weerondera ensonga ezinaabeera mu mboozi yo, zironde ng’olowooza ne ku ebyo abanaakuwuliriza bye bamanyi ku nsonga ezo. Kino kijja kukuyamba okuteeka mu mboozi yo ebyo byokka ebinaabaganyula. Singa ofuna obuzibu mu kino, yogerako n’omuntu alina obumanyirivu mu kuwa emboozi. Asobola okukuyamba okulonda ensonga ezisaanira era ezinaaganyula abanaakuwuliriza. Bw’oba omukakafu nti by’ogenda okwogera bijja kuganyula abanaakuwuliriza era ng’obitegese bulungi, tojja kutya, wabula, ojja kuba weesunga okuwa emboozi yo.

Lowooza ku bigambo by’ogenda okukozesa mu nnyanjula yo era manya engeri gy’onootandikamu. Oluvannyuma lw’ekiseera ng’otandise okwogera, okutya kujja kukendeera.

Obuweereza bw’ennimiro nabwo oyinza okubweteekerateekera mu ngeri y’emu. Lowooza ku ebyo by’ogenda okwogera n’abantu. Teekateeka bulungi ennyanjula yo. Yigira ku babuulizi abalina obumanyirivu.

Oyinza okulowooza nti tojja kuba na kutya kwonna singa by’ogenda okwogera byonna oba obiwandiise. Mu butuufu, ne bw’obeera ng’obiwandiise era osobola okutya. Kyo kituufu nti aboogezi abamu bawandiika bingi okusinga abalala. Naye, ebigambo by’owandiika si bye bijja okukuyamba okukendeeza ku kutya wabula ekinaakuyamba kwe kuba omumativu nti by’oteeseteese bijja kuganyula abanaakuwuliriza.

Weegezeemu mu ddoboozi eriwulikika. Bwe weegezaamu kikuyamba okukakasa nti emboozi yo ejja kuvaayo bulungi. Okwegezaamu, kujja kukusobozesa okujjukira obulungi ensonga zo ng’owa emboozi. Weegezeemu nga bw’onoobeera ng’owa emboozi. Kuba akafaananyi ng’otunuulira abakuwuliriza. Tuula ku ntebe oba yimirira mu ngeri y’emu nga bw’onoobeera ng’owa emboozi.

Saba Yakuwa akuyambe. Anaddamu okusaba kwo? “Buno bwe bugumu bwe tulina eri ye, nti bwe tusaba ekintu nga bw’ayagala, atuwulira.” (1 Yok. 5:​14) Bw’oba n’ekigendererwa eky’okuwa Katonda ekitiibwa awamu n’okuyamba abantu okuganyulwa mu Kigambo kye, awatali kubuusabuusa ajja kuddamu okusaba kwo. Ekyo kijja kukuwa obuvumu osobole okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwo. Okugatta ku ekyo, bw’ogenda okulaakulanya ebibala by’omwoyo, gamba ng’okwagala, okusanyuka, emirembe, obuwombeefu, okwegendereza​​​—⁠ojja kusobola okuwa emboozi yo nga totya.​​​—⁠Bag. 5:​22, 23.

Funa Obumanyirivu. Gy’okoma okwenyigira mu buweereza bw’ennimiro, gy’okoma okuggwaamu okutya. Gy’onookoma okubaako by’oddamu mu nkuŋŋaana z’ekibiina, gy’ojja n’okukoma okwanguyirwa okwogera mu maaso g’abantu. Bw’onoowa emboozi eziwerako mu kibiina, okutya kujja kugenda kukuggwaamu. Wandyagadde okufuna enkizo eziwerako ez’okuwa emboozi? Bwe kiba kityo, kola nga nnakyewa mu ssomero abalala bwe baba nga tebasobodde kuwa mboozi zaabwe.

Oluvannyuma lw’okussa mu nkola amagezi agakuweereddwa waggulu, ojja kukisanga nti kya muganyulo n’okutegeera ebyo omuntu by’akola ng’atidde. Okubitegeera n’okumanya engeri y’okubyewalamu, kijja kukuyamba okwogera ng’oli mukkakkamu. Okutya kweyolekera mu ebyo by’okola ng’oli ku pulatifoomu ne mu ddoboozi lyo.

Ebyo Ebiraga nti Omuntu Atidde. Engeri omuntu gy’ayimiriramu ne gy’akozesaamu emikono gye eyinza okulaga nti atidde. Ka tusooke twetegereze engeri emikono gye giragamu nti omuntu atidde. Okukwatira emikono emabega, oba okugissa mu kifo ekimu, okugissa mu nsawo ate oluvannyuma lw’akaseera katono n’ogiggyamu, okukwatirira akameeza akakozesebwa omwogezi; okusumulula amapeesa g’ekkooti ate oluvannyuma n’ogasiba, okukwata ku ttama oba okukwatirira ennyindo, ggalubindi, essaawa, ekkalaamu, empeta, n’empapula;​​​—⁠buno bwonna buba bubonero obulaga nti otidde.

Ate era, okuseetulaseetula ebigere, okumala gakyukakyuka, okwesimba ng’omuti, okukutaamirira, okwekombakomba, okumiramira amalusu ko n’okuweekeera, nabyo biraga nti omuntu atidde.

Bwe weefubako, osobola okubyewala. Lwanyisako kimu kimu. Manya ebintu by’okola ng’otidde, era olabe engeri gy’osobola okubivvuunuka. Bw’onookola bw’otyo, ojja kusobola okwogera nga totya.

Engeri Eddoboozi gye Liragamu nti Otidde. Okwogerera waggulu ekisukkiridde oba eddoboozi okukankana, biraga nti otidde. Ate era okugogola obulago buli kiseera oba okwogera ng’oyanguyiriza nabyo biraga nti otidde. Osobola okwewala obuzibu buno singa ofuba okwogera mu ngeri eya bulijjo.

Singa oba owulira ekiwuggwe, sooka osike omuka mungi enfunda eziwerako olyoke ogende ku pulatifoomu. Fuba okulaba nti wenna oteese bulungi. Mu kifo ky’okweraliikirira, lowooza ku nsonga lwaki oyagala okutegeeza abanaakuwuliriza by’otegese. Nga tonnatandika kwogera, sooka otunuulire abakuwuliriza, weetegerezeeyo omu alina akamwenyumwenyu ku maaso, mutunuulire, era naawe ssaako akamwenyumwenyu. Yogera mpolampola ng’otandika emboozi yo.

Ky’Olina Okusuubira. Tosuubira nti okutya kujja kukuggwaamu mangu. Aboogezi abalina obumanyirivu nabo batera okutya nga tebannagenda ku pulatifoomu. Kyokka, bamanyi engeri y’okwaŋŋangamu ekizibu kino. Omwogezi omu yagamba: “Nkyafuna ekiwuggwe naye mmanyi engeri y’okwaŋŋangamu ekizibu kino.”

Singa ofuba obutalaga nti otidde, abakuwuliriza tebajja kukimanya.

Jjukira nti, mu kiseera ekyo ng’otidde, omubiri gwo guba n’amaanyi mangi. Gakozese mu kwogera.

Tandikirawo kati okukozesa amagezi gano. Yiga okwogera ng’oli mukkakkamu era ng’oyoleka enneewulira. Okukola kino kijja kukuyamba okwogera nga totya ng’oli ku platifomu oba ng’oli mu buweereza bw’ennimiro gye kisinga okwetaagisa ennyo.

OKUSOBOLA OKWOGERA NGA TOTYA

  • Tegeka bulungi.

  • Weegezeemu okuwa emboozi yo mu ddoboozi eriwulikika.

  • ‘Ssa omugugu gwo ku Yakuwa’ ng’oyitira mu kusaba.​—Zab. 55:22.

  • Weenyigire mu buweereza bw’ennimiro bulijjo, baako ne by’oddamu mu nkuŋŋaana, ate era kola nga nnakyewa mu ssomero buli lwe wabaawo omukisa.

  • Manya ebintu by’okola ng’otidde, era ogezeeko okubyewala.

EKY’OKUKOLA: Buli wiiki okumala omwezi mulamba, fuba okuddamu emirundi egisukka mu gumu mu kusoma Omunaala gw’Omukuumi ne mu kusoma Ekitabo okw’Ekibiina. Okutya kujja kugenda kukendeera bw’onoddamu emirundi egissuka mu gumu.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza