ESSOMO 11
Okwoleka Omukwano n’Enneewulira
BULI omu alina enneewulira. Omuntu bwayoleka enneewulira, aba alaga ekyo ekimuli mu mutima, engeri gy’atwalamu abalala, era n’embeera eba eriwo. Abantu bangi kibazibuwalira okwoleka enneewulira zaabwe olw’embeera enzibu ze baba bayiseemu mu bulamu, oba olw’empisa y’omu kitundu gye baakulira. Naye Yakuwa atukubiriza okwoleka engeri ennungi ze tuba tukulaakulanyizza.—Bar. 12:10; 1 Bas. 2:7, 8.
Bwe tuba twogera, ebigambo bye tukozesa biyinza okutwetaagisa okubaako enneewulira gye twoleka. Naye bwe tutayoleka nneewulira etuukirawo, abatuwuliriza bayinza okubuusabuusa oba nga ddala tuli beesimbu mu bye twogera. Ku luuyi olulala, bwe twoleka enneewulira etuukirawo nga twogera, tujja kusobola okusikiriza abatuwuliriza era n’okubatuuka ku mitima.
Okulaga Omukwano. Bwe tulaga omukwano, tuba twoleka engeri gye tutwalamu abalala. N’olwekyo, bwe tuba twogera n’abantu ku ngeri za Yakuwa ennungi era nga tulaga nti tusiima obulungi bwe, eddoboozi lyaffe lisaanidde okwoleka omukwano. (Is. 63:7-9) Ate era engeri gye twogera bulijjo esaanidde okwoleka omukwano.
Omugenge yajja eri Yesu n’amusaba okumuwonya. Teeberezaamu eddoboozi Yesu lye yakozesa bwe yamuddamu nti: “Njagala; longooka.” (Mak. 1:40, 41) Ate era, kuba akafaananyi ng’omukyala alwadde ekikulukuto ky’omusaayi okumala emyaka 12 ajja asooba n’akwata ku kirenge ky’olugoye lwa Yesu. Omukyala oyo bw’akitegeera nti bamutegedde, asembera n’afukamira mu maaso ga Yesu ng’atidde nnyo, era n’ayogera mu lujjudde nti y’akikutteko era nti bw’akikoze n’awonerawo. Lowooza ku ngeri Yesu gy’ayogera ebigambo bino eri omukyala: “Mwana wange, okukkiriza kwo kukuwonyezza; genda mirembe.” (Luk. 8:42b-48) Omukwano Yesu gwe yayolesa eri abantu bano naffe etukwatako nnyo.
Okufaananako Yesu, engeri gye twogeramu n’abantu eraga nti tubakwatirwa ekisa era nti twagala okubayamba. Bwe twogera nabo mu ngeri ebazzaamu amaanyi kiba kiraga nti tuli beesimbu. Bwe tulaga abantu omukwano kiyinza okubaleetera okutuwuliriza. Obubaka bwe tubuulira butusobozesa okulaga omukwano naddala bwe tuba nga tukubaganya ebirowoozo n’abantu, nga tubazzaamu amaanyi, nga tubabuulirira, oba nga tubabudaabuda.
Omuntu bw’oba nga ddala omufaako, kyoleke ku maaso. Bw’oyoleka omukwano, abawuliriza bajja kussaayo omwoyo ku by’oyogera. Singa toyoleka mukwano abakuwuliriza bayinza okubuusabuusa oba nga ddala obafaako. Tulina okuba abeesimbu nga twoleka omukwano.
Era ddoboozi lyo nalyo lisaanidde okwoleka omukwano. Kiyinza okuba nga mu njogera yo kikuzibuwalira okwoleka omukwano. Naye bw’ofuba okukola ku kizibu ekyo, oyinza okukivvuunuka oluvannyuma lw’ekiseera. Kijjukire nti n’okwogera ng’osabuliza kiyinza okukulemesa okwoleka omukwano. Yiga okwogera empola mpola. Kino kijja kukuyamba okwoleka omukwano.
N’ekisingira ddala obukulu kwe kufaayo ku bakuwuliriza. Engeri gy’oyogeramu egya kulaga nti ebirowoozo byo obibamaliddeko era nti oyagala baganyulwe mu ebyo by’obabuulira.
Wadde ng’okwogeza amaanyi kisobola okuyamba abawuliriza okussaayo omwoyo, naye era kyetaagisa okwoleka enneewulira ng’oyogera nabo kikusobozese okubatuuka ku mitima.
Okwoleka Enneewulira Endala. Enneewulira gamba ng’okweraliikirira, okutya oba okwennyamira ziyinza okweyoleka ku muntu ali mu nnaku. Essanyu y’enneewulira gye tulina okusinga okwoleka mu bulamu bwaffe naddala bwe tuba twogera n’abalala. Ku luuyi olulala, waliwo enneewulira ze tulina okufuga kubanga tezikwatagana na ngeri za Kikristaayo. (Bef. 4:31, 32; Baf. 4:4) Enneewulira ez’enjawulo zisobola okwolesebwa okusinziira ku bigambo bye tukozesa, engeri gye twogeramu, endabika y’oku maaso, n’engeri gye tukozesaamu obubonero.
Baibuli eraga enneewulira ezitali zimu abantu ze booleka. Mulimu ebitundu ebimu ebyogera ku nneewulira abantu ze baayoleka, ate era ne mubaamu ebitundu ebiraga ebintu bye baakola oba ebigambo bye baayogera nga booleka enneewulira zaabwe. Singa eddoboozi lyo lyoleka enneewulira ezo ng’osoma ebitundu ng’ebyo mu ddoboozi eriwulikika, ggwe kennyini ojja kubiganyulwamu era n’abo abakuwuliriza. Okusobola okusoma mu ngeri eyo, weetaaga okwessa mu bigere by’abo b’oba osomako. Kyokka, bwe tuba tuwa emboozi tetusaanidde kubeera ng’abali mu katemba n’olwekyo fuba obutasavuwaza ng’oyogera. Yogera bwogezi mu ngeri eneereetera abakuwuliriza okukuba ekifaananyi ku ebyo by’osoma.
Okwoleka Omukwano n’Enneewulira Ebituugakana ne by’Oyogera. Okwogera ng’oyoleka omukwano n’enneewulira nakyo kisinziira nnyo ku ekyo ky’oba oyogerako.
Bikkula Matayo 11:28-30, weetegereze ebigambo ebirimu. Ate oluvannyuma soma ebigambo Yesu bye yayogera ng’avumirira abawandiisi n’Abafalisaayo, ebiri mu Matayo essuula 23. Tekiyinzika kuba nti Yesu yayogera ebigambo ebyo mu ddoboozi erikkakkamu.
Olowooza nneewulira ya ngeri ki omuntu gy’asaanidde okwoleka ng’asoma ebigambo bya Yuda mu Olubereberye essuula 44, ebikwata ku ngeri gye yali yeegayirira ku lwa muganda we Benyamini? Weetegereze enneewulira eragibwa mu lunyiriri 13, era n’olunyiriri 16 bwe lulaga engeri Yuda gye yawuliramu olw’ekizibu ekyo ekyali kibatuuseeko, ate era awamu n’engeri Yusufu gye yakwatibwako nga bwe kiri mu Olubereberye 45:1.
N’olwekyo, ka tube nga tusoma oba nga twogera, tetusaanidde kussaayo mwoyo ku bigambo byokka, naye era tusaanidde n’okwoleka enneewulira ezituukirawo.