KYAJJAWO KYOKKA?
Enkula y’Amasonko g’Amakovu ag’Omu Nnyanja
AMASONKO gakuuma amakovu nga gali wansi ku ntobo y’ennyanja ne gatafa olw’obuzito bw’amazzi. Ekyo kyewuunyisa nnyo bayinginiya abamu ne batandika okunoonyereza ku nkula y’amasonko ago nga bagamba nti ekyo kisobola okubayamba okuyiiya emmotoka oba okuzimba ebizimbe ebisobola okukuuma ababibaamu.
Lowooza ku kino: Bayinginiya beekenneenya enkula y’amasonko ga mirundi ebiri: ago agaakula ng’obubakuli obubiri obugattiddwa awamu n’ago agaakula ng’omusumaali ogw’enjola.
Kyazuulibwa nti obukuubo obuli kungulu ku masonko agaakula ng’obubakuli buleetera obuzito bw’amazzi okwolekezebwa mu kitundu obubakuli obwo we bwegattira ne ku migo gyabwo. Ate enkula y’ago agaakula ng’omusumaali ogw’enjola ereetera obuzito bw’amazzi okwolekezebwa ku kasongezo ne ku mumwa gwago. Enkula y’amasonko ago gombi ereetera obuzito okuggweera mu bitundu byago ebisinga obugumu, bwe kityo bwe wabaawo ekintu kyonna ekinyigiriza oba ekikuba essonko, ekkovu terikosebwa nnyo.
Era bannassaayansi baageraageranya amasonko ge baggya mu nnyanja ku ago ge baakola obukozi ne bakizuula nti obusobozi obw’okugumira obuzito obw’amasonko ag’omu nnyanja bwali bukubisaamu emirundi ng’ebiri obw’ago ge baali bakoze.
Ng’eyogera ku kunoonyereza okwo, magazini eyitibwa Scientific American egamba nti: “Singa lukya nga bayinginiya bakoze emmotoka eyakula ng’essonko, emmotoka eyo yandibadde erabika bulungi ate ng’esobola okukuuma abagitambuliramu ne batakosebwa bubenje.”
Olowooza otya: Amasonko g’amakovu ag’omu nnyanja gajjawo gokka oba gaatondebwa?