LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • nwt lup. 14-15
  • Ekibuuzo 6: Kiki Bayibuli kye yalagula ku Masiya?

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Ekibuuzo 6: Kiki Bayibuli kye yalagula ku Masiya?
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Ekibuuzo 6: Kiki Bayibuli kye yalagula ku Masiya?

EKIBUUZO 6

Kiki Bayibuli kye yalagula ku Masiya?

OBUNNABBI

“Ggwe Besirekemu Efulaasa, . . . mu ggwe mwe muliva omufuzi wa Isirayiri.”

Mikka 5:2

OKUTUUKIRIZIBWA

“Yesu bwe yamala okuzaalibwa mu Besirekemu eky’e Buyudaaya mu nnaku za Kabaka Kerode, abalaguzisa emmunyeenye baava Ebuvanjuba ne bajja e Yerusaalemi.”

Matayo 2:1

OBUNNABBI

“Ebyambalo byange babigabana, era engoye zange bazikubira akalulu.”

Zabbuli 22:18

OKUTUUKIRIZIBWA

“Abasirikale bwe baamala okukomerera Yesu ku muti, ne batwala ebyambalo bye eby’okungulu ne babigabanyaamu emirundi ena . . . Naye kyo ekyambalo eky’omunda kyali tekyatungibwa wabula nga kyalukibwa bulukibwa okuva wansi okutuuka waggulu. Awo ne bagambagana nti: ‘Tetukiyuzaamu, naye tukube akalulu tulabe anaakitwala.’ ”

Yokaana 19:23, 24

OBUNNABBI

“Akuuma amagumba ge gonna; tewali na limu ku go limenyeddwa.”

Zabbuli 34:20

OKUTUUKIRIZIBWA

“Bwe baatuuka ku Yesu ne balaba nga yafudde dda, tebaamenya magulu ge.”

Yokaana 19:33

OBUNNABBI

“Yafumitibwa olw’ebyonoono byaffe.”

Isaaya 53:5

OKUTUUKIRIZIBWA

“Omu ku basirikale abo n’amufumita effumu mu mbiriizi, era amangu ago ne muvaamu omusaayi n’amazzi.”

Yokaana 19:34

OBUNNABBI

“Ne bampa empeera yange, ebitundu bya ffeeza 30.”

Zekkaliya 11:12, 13

OKUTUUKIRIZIBWA

“Awo Yuda Isukalyoti, omu ku Kkumi n’Ababiri n’agenda eri bakabona abakulu, n’abagamba nti: ‘Munampa ki mmuweeyo gye muli?’ Ne bamusuubiza okumuwa ebitundu bya ffeeza 30.”

Matayo 26:14, 15; 27:5

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza